Kasalabecca

Bakutte abantu basatu ku by'okuwamba abantu

POLIISI e Mitooma, ekutte abantu basatu abagambibwa okuwamba omusuubuzi ne bakanda abeng'anda obukadde 30.

Bakutte abantu basatu ku by'okuwamba abantu
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

POLIISI e Mitooma, ekutte abantu basatu abagambibwa okuwamba omusuubuzi ne bakanda abeng'anda obukadde 30.

Isreal Twesigye 45, ow'e Sherere mu ggombolola y'e Rwaburunga e Mitooma, y'agambibwa okuwambibwa abantu abeefudde abaserikale ba poliisi ne bamubuzaawo mu mmotoka nnamba UAV 595G. Oluvannyuma baakubidde abeng'anda ze nga basaba obukadde 30 okumuyimbula.
Abeng'anda ensonga baazikwasizza poliisi n'ebayigga. Abaakwatiddwa, kuliko;  Onan Tumwebaze, Jacob Kakunguru ne Haustine Naserenga. Baabasanze Sembabule era  n'emmotoka egambibwa okweyambisibwa mu musango guno, nayo yazuuliddwa.
Omwogezi wa poliisi e Bushenyi, Apollo Tayebwa, yagambye nti, Twesigye  baamuzudde ng'ali mu mbeera nnungi. OMWANA omuwala owa S3 e Mbale,