Kasalabecca

Bebe Cool agenda kusenguka e Kiwatule

Ennyumba abaagirabyeko bagamba nti terina njawulo ne State House y’Entebe mu langi kwossa n’empagi ze yagitaddeko mu maaso gaayo.

Bebe Cool agenda kusenguka e Kiwatule
By: Musa Ssemwanga, Journalist @New Vision

Big sayizi Bebe Cool ebbango yeeyongedde okuliwanikira ddala ng’enjogera y’ennaku zino.

Agaliwo nga geesigika galaga nga bw’agenda okusenguka e Kiwatule gy’abadde amaze ebbanga nga abeera ne ffamire ye.

Ensonga si mabanja ga bbanka oba nti ali mu ntobazzi nti oba NEMA emugobyewo wabula yazimbye amaka amalala e Bwebajja mu baloodi.

Ennyumba abaagirabyeko bagamba nti terina njawulo ne State House y’Entebe mu langi kwossa n’empagi ze yagitaddeko mu maaso gaayo.

Mbu era Bebe Cool ye nsonga kulwaki ne mul uyimba lwe olupya olwa kakebere yayimbye ku muyimbi omu e Busaabala mu engeri y’okumujereegerera mbu yazimba mu Ghetto n’olutobazzi era yeetaaga kusendawo.

Ennyumba ya Bebe ateekateeka okujiyingira omwaka guno nga tegunaggwaako era y’emu ku ezo ezigenda okumenyawo ez’abayimbi abalala ezibaddewo ng’esinga ebbeeyi kw’ossa n’obunene.

E Kiwatule agamba waakuteekayo abapangisa kw’ossa ne situdiyo za Gagamel.

Tags:
Amawulire
Bebecool
Nnyumba