Weasel eyeemulugunya bamwanukudde
Yoyo, ye pulezidenti wa Uganda Performing Rights Society (UPRS), ekibiina ekivunaanyizibwa ku kukung’aanyiza abayimbi ssente zaabwe.
Wabula Weasel yatadde obubaka ku mutimbagano nga yeemulugunya oluvannyuma lwa UPRS okumuweereza 285,498/- ze baasoloozezza omwaka oguwedde.
Weasel yagambye nti ssente ntono ne yeewuunya nti olaba ye yafunye zityo, ate olwo abayimbi abatandika!
Yoyo yamwanukudde nti ssente tebazigaba kusinziira ku linnya lya muyimbi wabula basinziira ku mirundi ennyimba ze gye zikubiddwa.
N’agattako nti myuziki we omu, teyamuwandiisa nabo kubakkiriza kumusolooza. Yamujjukizza nti, myuziki baamukola n’omugenzi Mowzey Radio era ssente ezikung’aanyizibwa, ffamire ya Radio eweebwa omugabo gwe.