Kasalabecca

Cindy agaanye okuyimba mu kivvulu e Bungereza!

Ono y’omu ku baabadde mu kibuga London ku wiikendi, abaagenze okuyimba mu kivvulu kya Ug Fest 2026.

Cindy agaanye okuyimba mu kivvulu e Bungereza!
By: Musasi Bukedde, Journalist @New Vision

CINDY Sanyu agaanye okuyimba mu kivvulu e Bungereza lwa butasasulwa.

Ono y’omu ku baabadde mu kibuga London ku wiikendi, abaagenze okuyimba mu kivvulu kya Ug Fest 2026.

Cindy, aliko akatambi ke yatadde ku mukutu gwe ogwa Tik-Tok ng’alaga nga bwe yabadde

tannasasulwa kyokka nti yabadde mwetegefu okulinnya ku siteegi essaawa yonna we bamuweera ssente. 

Abaabaddeyo, baakanyizza kulinda muyimbi waabwe nga buteerere, era teyayimbye. Kyokka ate n’agenda mu kye baayise ‘after party’, akabaga akaategekeddwa oluvannyuma lw’ekivvulu.

Tags:
Cindy Baibe
King herself
London
Ug Fest
Bayimbi

Emboozi Ezifanagana