ENKOLAGANA y’omuyimbi Jose Chameleone ne maama we Prossy Mayanja nkwafu.
Pulomoota eyasoose okulugwamu ye Richmond okuva e Bungereza. Ono yabadde ategese Jose Chameleone ne Afrigo Band e Bungereza ku New Ham Leisure Centre omwezi guno naye eza tiketi ya maama wa Chamilli ne zimulemerera era ekivvulu, Chamilli n’akibuukamu.
Chamilli azze alinnyisa omutindo, waliwo ekiseera ng’abayimbi bakyayimbira emitwalo 30, ye yassaawo ‘levo’ ng’atalina kakadde ka nsimbi, tamupangisa.
Ennaku zino, ayimbira bukadde na bukadde bwa nsimbi Jjuuzi, yatandika okutambula ne baganda be okuli; Weasel ne Pallaso nga bw’omupangisa, bano nabo obasuubira era waliwo lwe yasaba ssente, ng’omuwendo gw’ensimbi, nabo ababaliddeko. Wabula kino tekyalwawo, anti kati, osobola okumupangisa nga tali na baganda be.