BAD BLACK akabina ke yeetaddeko mu ddwaaliro, kamutuuza matiitiiri. Mwanamuwala ono ng’amannya ge amatuufu ye Shanitah Namuyimbwa, gye buvuddeko yategeeza nga bwe yali agenda okwongera ku kabina ke kafuuke kanene.
Kati mu kifo ky’okutuula, afukamira bufukamizi ate okwebaka ku kitanda, assaawo lubuto. Agamba nti wadde ayita mu kusoomoozebwa n’obulumi, teyejjusa kasita yakoze ebbina.