MATILDA Whitney Nakayima, muwala w’omuyimbi Joanitah Kawalya owa Afrigo Band atenderezza nnyina olw’omukwano gw’alina eri abaana be.
Kawalya olwamubuuzizza lwaki asinga nnyo kutambula ne Nakayima ng’alinga ye mwana yekka gw’alina, yategeezezza nti abaana be bonna abagaala kye kimu nti naye ono y’alinga ayagala eby’okuyimba.
Nakayima agamba nti olw’okumukuza obulungi n’okumwagaliza okuyimba essaawa eno awulira ng’asobola okuyimba nga nnyina abantu ne banyumirwa.