Kasalabecca

Bad black asiibuddwa okuva mu ddwaaliro gye yali yagenda okumukola 'ebbina'

SHANITAH Namuyimbwa amanyiddwa nga Bad Black abadde amaze akabanga ng’ali mu ddwaaliro gye yagenda okukola akabina, amaze n’asiibulwa.

Bad black asiibuddwa okuva mu ddwaaliro gye yali yagenda okumukola 'ebbina'
By: Musa Ssemwanga, Journalist @New Vision

SHANITAH Namuyimbwa amanyiddwa nga Bad Black abadde amaze akabanga ng’ali mu ddwaaliro gye yagenda okukola akabina, amaze n’asiibulwa.

 

Ono abadde takyatuula nga n’okwebaka yeebakira ku lubuto anti ng’akabina tekannakala wadde okuwona oluvannyuma lw’okukola kye bayita BBL (Brazilian Bum Lift). 

Bad black bw'afaanana kati.

Bad black bw'afaanana kati.

Wabula kati yasiibuddwa n’ateekwa mu ambyulensi eyamututte ewuwe e Kira. We yakoma mu kwekubya ebifaananyi ng’alaga ffiga ye we yatandikidde n’alaga akabina k’alina kati.

 

Waliwo abaamujereze mbu tebalabawo njawulo era naye n’abaanukula nti, ye nnyini kabina, enjawulo agiraba era alinnyisizza n’ebisale singa wabaawo ayagala okumupangisa okukola omulimu gwonna kuba n’omutindo gwe gweyongeddeko.

 

Gwabadde guli gutyo, aboogerera embaga ye gye baasondera ssente n’etebaayo ne babittusa nga bwe bamulumiriza okuba nga ssente ze baamusondera ze yakozeemu okwewunda kuno.

 

Embaga yali yaakubaawo omwaka guno ku lunaku lw’abaagalana n’eyongezebwayo. Guno si gwe gusoose Bad Black okwekolako ‘sajale’. Nga tannasibwa mu kkomera mu 2012, yagenda mu Turkey n’akola ettutu ly’ebbeere.

 

Era azze akyogera lunye nti, langi ye, ey’obuddugavu gye yatondebwa nayo teyagisiima kwe kugikyusa n’afuuka mweru.

Tags:
Bad black
Shanitah Namuyimbwa
Kukola
Kabina