Kasalabecca

Nabbi omukazi yeewozezzaako ku by'okumulowooleza nti yafa

MAAMA w’omuyimbi Nabbi Omukazi, yakiguddeko. Omuyimbi ono, kati awangaalira mu America wabula maama we abeera kuno era abantu baatandise okumuweereza obubaka obumukubagiza muwala we.

Nabbi omukazi yeewozezzaako ku by'okumulowooleza nti yafa
By: Musa Ssemwanga, Journalist @New Vision

MAAMA w’omuyimbi Nabbi Omukazi, yakiguddeko. Omuyimbi ono, kati awangaalira mu America wabula maama we abeera kuno era abantu baatandise okumuweereza obubaka obumukubagiza muwala we.

 Nabbi Omukazi, amannya ge amatuufu ye Maggie Kayima era erisooka alifaananya n’erya Maggie Kiweesi eyali Nnaalongo wa Ak47 eyafudde ne bamuziika ku wiikendi.

Amawulire g’okufa kwa Nnaalongo Maggie Kiweesi olwasaasaana, abamu tebaasooka kwetegereza mannya gombi era ab’oku kyalo gye bazaala nabbi Omukazi, baagenda mu maka ga nnyina ng’amannya gabatabudde nga balowooza Maggie Kayima y’afudde.

Baabannyonnyolera awo nga batuuseewo nti, Nabbi Omukazi mulamu.  Kino kyakanga Nabbi Omukazi era n’ateeka obubaka ku mutimbagano obutegeeza abantu nga ye bw’atannafa n’asaasira abaffamire ya Nnaalongo, olw’okufiirwa omuntu waabwe era n’asaba Katonda amuwummuze mirembe.

Tags:
Nabbi omukazi
Kwewozaako
Kufa
Mukazi
Kuwoza
Kuwolereza