Kasalabecca

Pretty Amiirah awangudde engule e Dubai

Pretty Amiirah 6, asambira mabega nga jjanzi oluvannyuma lw’okuwangula engule y’omuyimbi omuto asinze okukooka omwaka guno.

Pretty Amiirah awangudde engule e Dubai
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

Pretty Amiirah 6, asambira mabega nga jjanzi oluvannyuma lw’okuwangula engule y’omuyimbi omuto asinze okukooka omwaka guno.

Engule eno yajiwangudde mu awaadi eza Young Talent Awards ezaabade mu kibuga Dubai wakati mu kuvuganyizibwa okwamaanyi okuva mu mawanga okuli Nigeria, South Africa, Kenya, Tanzania kwossa Ghana ne Senegal.

Amiirah ku emyaka emito mu njogera ennyangu oyinza okugamba nti byona abikoze anti ng'oggyeeko eno awaadi, musaayi muto ono alina endala gye yawangula okuva mu ensi ya Ghana ey’omuyimbi atandika ow’omwaka.

Takoma ku kuyimba kwoka, Amiirah alina n’ekitone ky’okuwandiika era gyebuvudeko yawandise era natongooza akatabo k’abaana akapya akamanyidwa nga ‘Best Friends’ Myra and Mimi’.

Bw’osomera bino, Amiirah yaakamala okuta vidiyo y’oluyimba lwe ‘Keep on Moving’ era lw'atambuza.

Ennyimba endala zaafulumizza kuliko; Kampala nga enyize nze n'endala.

EBIRALA EBIKWATA KU MWANA ONO

  • Yatandika okuyimba ku myaka 3 era yatandika n’oluyimba lwe yatuuma ‘Mummy’ nga kati aweza ennyimba ezisukka mu 10.
  • Ng'ogyeeko okuyimba, Amiirah amanyi n’okusona emisono era ‘Model’ eyawangula engule eya Toto Inclusive Queen East Africa Kids Fashion Run way, kwosa ne ya Miss Toto Miss Pearl Of Africa.
  • Gye buvuddeko yatongozza n’akatabo ke yatuumye ‘Best Friend Myra and Mimi’ kwossa n’okulabikirako mu ffirimu ya ‘Price of a Woman.
Tags:
Pretty Amiirah
Dubai

Emboozi Ezifanagana