Kasalabecca

Eyaliko miss Bukedde n'awangula ez'okuyimba e Tanzania akomyewo ne bamutendereza obuvumuj

Praise Wisdom eyawangula empaka z'okuyimba e Tanzania ayaniriziddwa mu mizira ku kisaawe e Ntebe bw'abadde akomawo ku butaka ne bamutendereza olw'obuvumu n'okutumbula eggwanga lye.

Eyaliko miss Bukedde n'awangula ez'okuyimba e Tanzania akomyewo ne bamutendereza obuvumuj
By: Huzaima Kaweesa, Journalist @New Vision

Praise Wisdom eyawangula empaka z'okuyimba e Tanzania ayaniriziddwa mu mizira ku kisaawe e Ntebe bw'abadde akomawo ku butaka ne bamutendereza olw'obuvumu n'okutumbula eggwanga lye.

Abayizi abasoma ne Praise nga bamwaniriza ku kisaawe

Abayizi abasoma ne Praise nga bamwaniriza ku kisaawe

Empaka zino ezaatuumibwa Bongo Star Search (BSS) zaayindira mu ggwanga lya Tanzania omwezi oguwedde era zeetabwamu amawanga ag'enjawulo omuli Uganda, Kenya wamu ne Tanzania.

Praise yategeezezza nga bwe kitaali kyangu okuwangula empaka zino kubanga zeetabwamu bannabitone ab’enjawulo nga kibadde kyetaagisa obuvumu obw’amaanyi okuyitawo.

Praise ng'ayogera.

Praise ng'ayogera.

Yasiimye nnyo bonna abamubeereddewo ne bamuwagira mu kitone kye era naye n’asuubiza obutabayiwa.

Oluvannyuma abawagizi be baakunganidde ku Theatre La Bonita okwabadde ne bannabitone ab’enjawulo.

Munnabitone Sam Bagenda amanyiddwa nga Dr. Bbosa yayozaayozezza Praise okutuuka ku buwanguzi buno n’amusaba okukulembeza empisa mu buli kimu ky’akola lw’ajja okusobola okutuuka ku bisinga.

Tags:
Praise Wisdom
Mpaka
Kasalabecca