Desire Luzinda ng’oggyeeko okuba nti yajaguzza omwaka mu bufumbo ne Sam Lucas Lubyogo amanyiddwa nga Levixone ku Lwokutaana lwa wiiki ewedde, era ge gaabadde amazalibwa gge.

Levixone ne mukazi we omwaka oguwedde ku mbaga yaabwe.
Omwaka oguwedde nga August 15 abayimbi ababiri bano baakuba ebirayiro mu maaso g’omusumba Grace Lubega e Kigo ku wooteri ya Serena era ne beesuubiza okukaddiwa bombi mu bwavu n’obugagga.
Levixone obubaka bwe yateeka ku yintaneeti wiiki ewedde bwalimu okwebaza Katonda olwa mukyala we era n’ategeeza nti kye kintu ekirungi ekyali kimutuuseeko bukyanga azaalibwa.

Levixone ne Desire ku mbaga yaabwe.
Kinajjukirwa nti embaga eno yaliwo mu wiiki y’emu n’okukyala era abayimbi, bannabyabufuzi, Abasumba kw’ossa n’abantu abazito mu ggwanga baayitibwa okubeerawo nga abajulizi.
Era ku mukolo guno ogw’embaga Desire Luzinda yazirika wabula Levixone n’avaayo n’ategeeza nga mwoyo bwe yali asse ku mukyala we
“Okuzirika kwa mukyala wange ku mbaga tukwebaliza Katonda era kwava ku abantu ba mukama abangi abaali bamwetoolode ku mukolo” Levixone bwe yategeeza.