Bukyanga Hamza Sebunya afiirwa maama we n’aziikibwa e Mukono, abaagalana bano ababiri babadde baludde okulabibwaako bombi mu lujjudde.

Rema ne Hamza bwe baabadde bawagira muwala waabwe
Eno eby’okubeera bassereebu baabitadde ku bbali nabo ne beetaba butereevu mu mizannyo okwabadde okudduka, okwepena kw’ossa n’okukuba enduulu nga bawagira omusaayi gwabwe.
Era wano abasazi b’Omugambo abaali batandise n’okujuliza engero za baajjajjaffe ffe nti ewali omukka tewabula muliro ne bitandika okubakalira ku mimwa.
Ebigambo bibadde bingi nti bano bandiba nga baayawula ebisenge nga kati baasigaliza gwa kukuza abaana baabwe ababiri ab’obuwala.
Ne Hamza eky’okubeera omusajja omusiraamu, nti yandiba nga yafunayo Haki endala era n’ebifaananyi by’omuwala ne biteebwa ne ku mutimbagano.
Ku mutimbagano okwo era gabadde gatambula mbu Rema ne mu ggwanga ayinza okuba taliimu nti alina gye yagenda mu ensi emu ne nfa nfe we amanyiddwa nga Faridah Ndausi.