Joshua Baraka alondeddwa okuvuganya mu awaadi z’e Nigeria. Joshua Baraka ye muyimbi munnayuganda yekka eyalondebwa okuvuganya mu awaadi za ‘Headies’ ez’omulundi ogw’e 18 ezigenda okubeera mu kibuga Toronto ekya Canada mu mwezi gwa October.

Ekibinja kye baamutaddemu
Awaadi zino ze zimu ku ezo ezirina amaanyi n’enkizo ku lukalu lwa Afirika okusinziira ku bagoberera ensonga z’okuyimba.
Ng’oggyeeko okuba nti zaatandika n’ekigendererwa ky’okukuza ebitone n’okusiima abalina kye bakoze, ziweebwa nnyo ekitibwa olw’entegeka, okuvuganya n’omusimbi omuyitirivu oguziteekebwaamu.
Empaka zino ensibuko yaazo eri mu eggwanga erya Nigeria era gye zaatandikira mu mwaka gwa 2006.
Wabula nga wayise emyaka, abategesi baakizuula nti abawagizi b’ennyimba za bayimbi abafirika bali kumpi buli wamu kwe kusalawo okutandika okusengula omukolo guno.

Baraka bw'afaanana eyalondeddwa
Baatandikira mu America mu kibuga Atlanta mu 2022 ne 2023 era ng’abategesi bakubirizza nnyo abagenda okuzeetabako okwambala mu engeri eggyayo ekifaananyi kya Afirika.
Jose Chameleon, Eddy Kenzo, Navio be bamu ku abayimbi abalala abaali bavuganyizzaako mu awaadi zino.