Zuena ne Bebe basisinkanye omuyimbi Tyrese okuva mu America. Abaagalana bano mu njogera ya leero oyinza okugamba baakikuba era tebakyasabirwa.

Mummy Zue ne Tyreese mu kifaananyi
Tebaakomye okwo, ne bwe yabadde agenda okusisinkana omukulembeze w’eggwanga mu maka ge e Entebbe, era baamuweerekeddeko.
Kino kyarese ebibuuzo ebiwera mu bantu nga beebuuza ababiri bano kakwate ki ke balina n’omuyimbi ono nnakinku mu okuyimba ennyimba z’omukwano.

Tyrese ne Bebe
Wano bo abawagizi ba Bebe Cool bafuniddewo omukisa ogupika omuyimbi waabwe nga bagamba ye ssaawa abayimbi ba wano beerariikirire anti ekijja si muntu.
Mbu big Sayizi ayinza okuba yakozesezza akakisa kano okukolayo oluyimba ne Tyrese yadde nga si waakumala ennaku ziwera ng’akyaliwo.

Wano yabadde ne Pulezidenti Museveni