MANEJA Jeff Kiwa ne ffamire ya Bamayanja, ebiriwo biraga nti badding'anye.
Okumanya bali bulala, Jeff yakoze oluyimba ne Chameleone era lutambula. Kyokka Jeff Kiwa ne Pallaso, baayawukana bubi nnyo.
Ababiri bano baali mu kibiina kya Team no Sleep ekyali kikulemberwa Jeff Kiwa era omwali ne Sheebah wabula ne baawukana bubi era ne poliisi yayingirawo okubataawuluza nga balwanira ennyumba ye e Makindye eya Neverland.