Kasalabecca

Ssente za SACCO akawumbi kalamba zisibizza omutegesi w'ebivvulu

OMUTEGESI w’ebivvulu Nobert Twizire amanyiddwa nga Nobert Events, asindikiddwa mu kkomera lwa kubulankanya ssente za SACCO ezisoba mu kawumbi kalamba.

By: Musa Ssemwanga, Journalist @New Vision

OMUTEGESI w’ebivvulu Nobert Twizire amanyiddwa nga Nobert Events, asindikiddwa mu kkomera lwa kubulankanya ssente za SACCO ezisoba mu kawumbi kalamba.

Nobert era nga ye ssentebe wa zooni ya Hospital Village e Nsambya mu munisipaali y’e Makindye, yasimbiddwa mu kkooti y’eddaala erisooka e Makindye ku gw’okubba ssente za bammemba aba SACCO ssaako okubulankanya ssente endala eziri mu bukadde 38.

Ssente ezaakwasizza Nobert, zaweebwayo pulezidenti Museveni eri abategesi b’ebivvulu abeegattira mu SACCO eya Kampala Beyond Promoters nga baali bazigabana nga beewola mu kibiina kyabwe okweggya mu bwavu.

Yasimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Phiona Birungi eyamusomedde emisango wabula teyamukkirizza kubaako ky’ayanukulu kuba kkooti zino tezikkirizibwa mu mateeka okuwulira misango gisukka obukadde 100.

Yasindikiddwa mu kkomera okutuusa nga October 26, 2026 lw’anazzibwa mu kkooti okuwulira okunoonyereza we kutuuse.OMUTEGESI w’ebivvulu Nobert Twizire amanyiddwa nga Nobert Events, asindikiddwa mu kkomera lwa kubulankanya ssente za SACCO ezisoba mu kawumbi kalamba.

Nobert era nga ye ssentebe wa zooni ya Hospital Village e Nsambya mu munisipaali y’e Makindye, yasimbiddwa mu kkooti y’eddaala erisooka e Makindye ku gw’okubba ssente za bammemba aba SACCO ssaako okubulankanya ssente endala eziri mu bukadde 38.

Ssente ezaakwasizza Nobert, zaweebwayo pulezidenti Museveni eri abategesi b’ebivvulu abeegattira mu SACCO eya Kampala Beyond Promoters nga baali bazigabana nga beewola mu kibiina kyabwe okweggya mu bwavu.

 Yasimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Phiona Birungi eyamusomedde emisango wabula teyamukkirizza kubaako ky’ayanukulu kuba kkooti zino tezikkirizibwa mu mateeka okuwulira misango gisukka obukadde 100.

Yasindikiddwa mu kkomera okutuusa nga October 26, 2026 lw’anazzibwa mu kkooti okuwulira okunoonyereza we kutuuse.

Tags:
Nobert Events
Bivvulu
Mutegesi
Kawumbi
SACCO
Ssente
Kusibya

Emboozi Ezifanagana