Lydia Jazmine asiimye Polof Kateregga owa Kampala University
Olunaku Olwokusatu, ye ne tiimu ye enkoko baajikutte mumwa ne beesogga ssettendekero wa Kampala University okusiima Polof. Kateregga.
Ono baamuwadde ebimuli ne satifikeeti okumwebaza obuwagizi bwe yabalaga gye buvuddeko Lydia Jazmine bwe yali ategese ekivvulu e Lugogo.
Eno kati efuuse enkola ya abayimbi abasinga buli lwe bamaliriza okutegeka ebivvulu baddayo ne basiima abo ababeera babawagidde naddala mu kugula emmeeza.
Kino abasinga bakitadde ku embeera y’ebyenfuna eri wansi nga kati kizibu okumala gafuna omuntu akussaamu ssente ng’otegese ekivvulu.
Abasinga bagamba kano akabadi kandikola naddala mu kiseera abagagga abasinga nga tebakyayagala kuteeka ssente zaabwe mu bayimbi oba ebivvulu.