🇺🇬 Tukwagaliza Olunaku olw'Ameefuga ag'e 64 olulungi 🇺🇬
  *   🇺🇬✨ Okujaguza eddembe lyaffe, obusika bwaffe, obumu, okwesiimisa n'omwoyo gwa Uganda. Tiimu ya Bukedde ekwagaliza Olunaku olw'ameefuga olw'omulundi ogwa 64!🎉🇺🇬   *  
Kasalabecca

Sheilah Gashumba agenze Kenya kutabula muziki!

Bukyanga atandika ogw’okutabula ekyuma omwaka oguwedde, Sheilah Gashumba takyaviira ddala ku nnyonyi.

Sheilah Gashumba agenze Kenya kutabula muziki!
By: Musa Ssemwanga, Journalist @New Vision

Bukyanga atandika ogw’okutabula ekyuma omwaka oguwedde, Sheilah Gashumba takyaviira ddala ku nnyonyi.

 

Agava mu enkambi ye galaga nga kati bw’ayolekede ewa Ruto e Kenya okucamula abaayo.

 

Wiiki namba waakujimala mu ggwanga lino ng’atabula ekyuma era gwe mulundi gwe ogusookedde ddala era musanyufu ebitenkanika.

 

Omwaka guno agumazeeko atalaaga amawanga okuli Tanzania, Rwanda, Burundi, South Africa okugezesa ekitone kye kino ekipya.

Tags:
Kasalabecca
Sheilah Gashumba
Kenya
Kutabula
Muziki