🇺🇬 Tukwagaliza Olunaku olw'Ameefuga ag'e 64 olulungi 🇺🇬
  *   🇺🇬✨ Okujaguza eddembe lyaffe, obusika bwaffe, obumu, okwesiimisa n'omwoyo gwa Uganda. Tiimu ya Bukedde ekwagaliza Olunaku olw'ameefuga olw'omulundi ogwa 64!🎉🇺🇬   *  
Kasalabecca

Ekivvulu ky'omu Congo Kofi Olomidde kisaziddwamu lwa Ebola

Omucongo amanyiddwa nga Koffi Olomide emirundi gye yaakajja e Uganda tobala wabula ku luno minisitule y’obulamu emusibidde ekikookoolo olw’ekirwade kya Ebola.

Ekivvulu ky'omu Congo Kofi Olomidde kisaziddwamu lwa Ebola
By: Musa Ssemwanga, Journalist @New Vision

Koffi Olomide ekivvulu kye e Gulu kisaziddwamu. Omucongo amanyiddwa nga Koffi Olomide emirundi gye yaakajja e Uganda tobala wabula ku luno minisitule y’obulamu emusibidde ekikookoolo olw’ekirwade kya Ebola.

 

Abade alina okucamula abadigize e Gulu ku Lwokutaano lwa wiiki eno mu ekivvulu ekyatuumiddwa ‘Koffi Live in Gulu City Concert’ era nga abantu bakyesunze okufa.

Ekiwandiiko ekyafulumiziddwa.

Ekiwandiiko ekyafulumiziddwa.

Wabula, okusinziira ku bbaluwa eyawandiikiddwa minisita w’ebyobulamu Chris Baryomunsi eggulo nga October 7, 2026, ono ne bandi ye tebakkirizibwa kulinnya kigere mu ggwanga.

 

Kigambibwa nti abamu ku bagenda okujja n’omuyimbi ono bava mu bimu ku bifo ebigambibwa okubaamu obulwadde buno mu ggwanga erya DRCongo ekintu ekigenda okuteeka eggwanga mu buzibu.

 

Abategesi b’ekivvulu kino aba Open Mic beetondedde Bannayuganda era ne basuubiza okumukomyawo gye bujja.

Tags:
Coongo
Kivvulu
Ebola

Emboozi Ezifanagana