Vivien Tendo asulirira kuzaala mwana we asooka mu America.
Amawulire ge tufuna galaga nga bw’asulirira okuzaala era emyaka 3 gye bamaze bonna mu bufumbo n’omusumba beteekerateekara omwana waabwe asookedde ddala.
Okusinzira ku bifaananyi ebifulumye, omukolo guno ogwakazibwako erya ‘Baby Shower’ gwabadeko abantu batono nnyo era okugwetabako wabadde olina okwambala engoye eza Langi ya ‘Pink’.
Wabula yadde guli gutyo, mu America gy’awangarira mulimu abatambuza ebigambo nga bwe yazaala edda omwana omuwala mbu bino ebifaananyi ayagadde okubita kati kuguumaaza bantu na kusigala mu amawulire nga bw’eri enkola ya bassereebu abasinga naddala abakazi.
Ku mutimbagano, ebiseera ebisinga abadde ateekako ebifaananyi ng’ali mu maduuka amanene nga agula obugoye n’ebyokuzanyisa by’abaana.