Omwaka guno kizibu okufunayo omuyimbi ow’awano asinze Jose Chameleone okutalaaga ensi ng’ayimba.
Pulomoota omukyala amanyiddwa nga Sara Key owa SaraKey-Ail Inernational amupangisizza ayimbire banauganda abawangaalira mu ggwanga lya Budaaki.
Eno waakuyimba yo ne The Ben okuva mu ggwanga erya Rwanda omwezi guno nga 24 mu kifo kya Rhoneweg 12-14 Amsterdam.
Ge tufuna okuva mu enkambi ye eya Leone Island galaga nga kino kye kivvulu ky’asembye okuyimbako ebweru w’eggwanga omwaka guno.