🇺🇬 Tukwagaliza Olunaku olw'Ameefuga ag'e 64 olulungi 🇺🇬
  *   🇺🇬✨ Okujaguza eddembe lyaffe, obusika bwaffe, obumu, okwesiimisa n'omwoyo gwa Uganda. Tiimu ya Bukedde ekwagaliza Olunaku olw'ameefuga olw'omulundi ogwa 64!🎉🇺🇬   *  
Kasalabecca

Maneja Roger yeeyiyeemu enzirusi kapyata!

ROGER Lubega akikuba. Okusinziira nga bwe tulaba ebintu bye, kyandiba nga bimutambulira bulungi ennaku zino.

Maneja Roger yeeyiyeemu enzirusi kapyata!
By: Musa Ssemwanga, Journalist @New Vision

ROGER Lubega akikuba. Okusinziira nga bwe tulaba ebintu bye, kyandiba nga bimutambulira bulungi ennaku zino.

 

Roger yakedde mu bondi emu e Nakawa ne yeeyiwamu mmotoka ekika kya ‘Ford Raptor’ zino ezigambibwa okuvugibwa abagazi mu ensawo. Mmotoka eno ebalirirwamu obukadde nga 100 era yakolebwa mu tekinologiya musuffu. 


Mu budde bwe tugendamu obw’akaseerezi, eno tebulabamu era kigambibwa Roger yajiguze asobole okutambuza emirimu gye ku ffaamu ye gy’alina e Gomba.


 Abaamusanze nga yaakagigula bagamba agikwata ng’omwana era asiiba yeekubya ebifaananyi ku yo n’okwekwata obuvidiyo ng’agivuga.

 

Tags:
Kasalabecca
Maneja Roger