FAITH Robinah Kabugo, omuyimbi w’ennyimba z’eddiini, ali mu bijaguzo.
Kabugo, azaalibwa Lugazi mu Mukono nga yatandika okuyimba mu 2005. Alina ennyimba eziwera okuli n’olukyasembyeyo olwa ‘ Opanga’.
Asabira ku Deliverance church e Ntebe. Mukyala mufumbo ajjudde nga bba ye Pasita Micheal Kabugo.