Kasalabecca

Okwaabya olumbe lwa Paul Kafeero kwa mwaka gujja.

Wakati awo bingi ebizze bibeerawo okugeza nga okukaayanira emmaali ye n’okuzuula abaana be abatuufu.

Okwaabya olumbe lwa Paul Kafeero kwa mwaka gujja.
By: Musa Ssemwanga, Journalist @New Vision

Emyaka giweze  bukyanga omuyimbi Paul Kafeero ava mu bulamu bwensi eno. Yafiira ku emyaka 36 mu ddwaaliro e Mulago mu mwaka gwa 2007.

 

Wakati awo bingi ebizze bibeerawo okugeza nga okukaayanira emmaali ye n’okuzuula abaana be abatuufu.

 

Mu embeera eyo, omu ku baana 4 abaazuulwa nti babe amanyiddwa nga Swarz Kafeero avuddeyo n’ayanjula enteekateeka z’okwabya olumbe lw’omwagalwa wa bangi.

 

Swarz agamba nga bo ab’ekika bwe basazeewo kino nakyo bakiggye mu ddiiro era balonze January nga 8 omwaka ogujja nga olunaku lw’okwabya olumbe.

 

Lujja kwabizibwa mu maka g’omugenzi agasangibwa e Bukunja Masaaba Kalega mu Kyagwe. Era wano omusika waakutekebwaako kw’ossa n’emikolo emirala

Tags:
Paulo Kafeero
Kwabya
lumbe
Mwaka Gujja