Kasalabecca

Madrat ne Chiko bawangude awaadi

Akola obulungi asiimibwa na bwe kityo ab’e Mukono bawadde Madrat and Chiko awaadi.

Madrat ne Chiko bawangude awaadi
By: Musa Ssemwanga, Journalist @New Vision

Akola obulungi asiimibwa na bwe kityo ab’e Mukono bawadde Madrat and Chiko awaadi.

 

Awaadi eno bagiwangude mu mpaka ezimanyidwa nga Mukono Grand Awards era abategesi bagituumye “ Best Life Time Achievement Award’.

Madrat ne Chiko abaawangudde awaadi

Madrat ne Chiko abaawangudde awaadi

Madrat ne Chiko bamaze emyaka egisoba mu kkumi nga basanyusa abantu era buli mwaka bategekayo n’ekivvulu kye batuuma ‘Nseko Buseko’.

 

Mu essanyu eritalabikangako, Madrat and Chiko badugaza omutimbagano ne awaadi eno kw’ossa n’obubaka obwebaza abategesi n’abawagizi baabwe abatabasuuliride emyaka gyonna.

Awaadi gye baawangudde

Awaadi gye baawangudde

 

Tags:
Kasalabecca
Savannah
Mifi