Chagga mu mwezi ogw’okubiri yabomba n’agenda ku kyeyo e Bungereza.

Chagga eyakomyewo
Chagga okubomba abasinga baakissa ku embeera embi gye yali awangaaliramu nga ne we yali asula mu maka ga Neverland e Makindye, omuyimbi Weasel yamusuulira ebintu bye ebweru nga bafunyeemu obutakkaanya.
Bangi baamusanyukirako nti gy’alaze agenze kuyoola, kweyozaako nnaku n’okukyusa obulamu wabula enviiri katono zibaggwe ku mutwe wiiki eno bwe bamulabye e Kisaasi mu ssaati ye ey’ekitengi ekya langi ya kyenvu ne kiragala.
Ekituufu ekyamutuuseeko ye nga omuntu takyogera wabula ebikolwa bye biraga si waakudayo kati. Yatuukidde mu situdiyo eya Supremacy e Nankulabye n’akola n’oluyimba olupya ne polodyusa Washington.
Wabula nkuubo za bannamawulire naddala abagoberera obulamu bwa bassereebu, ekiboozi kitambula nga bwe bamutisse ku nnyonyi eddako oluvnanyuma lw’okusangibwa nga talina biwandiiko bimukkiriza okubeera mu ggwanga erya Bungereza.