Kasalabecca

Pallaso azzeeyo e South Africa gye baamukubira

Pius Mayanja gwe tumanyi nga Pallaso abade amaze emyaka 5 nga talinnya mu ggwanga lya South Africa. 

Pallaso azzeeyo e South Africa gye baamukubira
By: Musa Ssemwanga, Journalist @New Vision

Pius Mayanja gwe tumanyi nga Pallaso abade amaze emyaka 5 nga talinnya mu ggwanga lya South Africa.

 

Yadde yali yalayira obutaddayo, mbu Waliwo  pulomoota eyamuwadde omudidi gw’ensimbi ayimbe ku bivvulu bye yategese mu bibuga bya South Africa eby’enjawulo.

 

Waakumalayo wiiki nnamba era yagenze n’omuyimbi Jowy landa gw’alude nga ayambako naddala mu bya muziiki.

 

Kinajjukirwa omwaka gwa 2020, Pallaso yalumbibwa abantu abatategeerekeka bwe yali akwata vidiyo y’ezimu ku nnyimba ze mu kibuga Johannesburg.

 

Bano baamukolako effujjo omwali okumukuba nga oyinza okugamba ssi ssereebu.

 

Abasinga baasooka kukayita kabadi wabula bayimbi banne okuli Cindy ne King Saha baavaayo ne bamuyiirawo omubiri nga bakakasa nti ebyali bimutuuseeko byali bituufu.

Tags:
Pallaso
South Africa
Kukuba
Kuddayo