DESIRE Luzinda ne bba Levixone, baasiba kiwaani oba abantu be baacamuka ennyo ne basuubira ebitaliiyo?
Gye buvuddeko, vidiyo ya Desire yeefuga emitimbagano gya yintaneeti ng’eraga Desire ng’ali olubuto nga ne Levixone aluweeweetako ng’era abasajja bwe batera okukola eri bakyala baabwe abali embuto.
Desire yassaako obubaka obwali bulaga nti essaawa yonna, Levixone afuuka ssaalongo olwo ababaagaliza ebirungi ne babayozaayoza.
Wabula Desire yeewuunyisizza abantu eggulo ku kisaawe e Ntebe, bwe yayingiddewo ng’olubuto telulabikako wadde nga bwe gwali mu vidiyo kyokka nga ne bwe kuba kuzaala, era omwana omuwere teyabadde naye.
Wano abamu we baagambidde nti kirabika engeri gye beeyita ‘Man ne Woman of God’, basuubira.