IRYN Namubiru azitowa kkiro 86, addukidde mu giimu asaleko, waakiri adde ku kkiro 75.

Namubiru Bwe Yabadde Mu Byambalo Bya Giimu
Wabula gye buvuddeko, abantu baatandise okwebuuza by’alya ebimugezzezza okuva ku sayizi kwe bamumanyidde. Wano abamu we baatandikidde okubijweteka nti oba, yandibaamu ettu lya mugema.
Abo tabalinze kwongera kumuwaayiriza, n’ategeeza nga naye bw’agezaako okulwanyisa omugejjo era yazzeeyo mu jjiimu akole ffiga nga gye yalina we yayimbira akayimba ka; ‘Nkuwe ki’ akaafuuka hiiti mu 2006 nga kati gy’emyaka 20 bwe ddu.
Gye buvuddeko, Iryn ono, yafulumya akatabo ke yatuuma ‘My Mother Knows’ era kigambibwa nti akakozeemu omusimbi kyokka era yalabwako ng’apepeya n’omuzungu. Abamu bagamba nti emirembe gy’alina, gye gimugezzezza.