Kasalabecca

Chagga atandise ekibiina kye akwate ku bayimbi abato

KYANDIBA nga Chagga (Geoffrey Kyagambidwa) ebweru gye yali agenze, tewaamusala. Atandise ekibiina ekikye ky’atuumye ‘Big Papa Entertainment’ era agamba nti waakukwata ku bayimbi abato n’okutegeka ebivvulu. 

Chagga atandise ekibiina kye akwate ku bayimbi abato
By: Musasi Bukedde, Journalist @New Vision

KYANDIBA nga Chagga (Geoffrey Kyagambidwa) ebweru gye yali agenze, tewaamusala. Atandise ekibiina ekikye ky’atuumye ‘Big Papa Entertainment’ era agamba nti waakukwata ku bayimbi abato n’okutegeka ebivvulu. 

 

Ng’omwaka guno gutandika Chagga, yagenda ku ekyeyo e Bungereza wabula teyamalayo bbanga ddene n’adda e Kampala.

Chagga

Chagga

Chagga okusooka okugenda ku kyeyo, abaamuli okumpi baagamba nti embeera yali emutabuseeko nga ne w’asula e Neverland mu Makindye, yali afuuse aga n’aga. 

 

Abaamusanyukirako ng’agenze ebweru, baategeeza nti k’agende atetenkanye asobole okukyusa obulamu.

 

Olugendo lwe olw’oku kyeyo talunyumya wabula by’akola oluvannyuma lw’okudda, biraga siwaakuddayo mu bwangu era kati akoze ekibiina ekisika talenti.

Tags: