EBYA laavu y’omuyimbi Kingi Saha ne munne Winnie wa Mummy bitabuse. Winnie wa Mummy asinzidde ku mutimbagano gwa Tik-Tok n’ayogera obulumi bw’ayitamu ng’alumiriza King Saha okubumutuusaako.

Winnie Wa Mummy ne King Saha
Wabula ku Tik-Tok, Winnie yategeezezza nti babadde mu laavu gy’alabiddemu ennaku eterojjeka ate mu kimugunyu ne yejjusa okugwa mu mukwano ne Saha.
Mu August w’omwaka guno ng’ebula ennaku mbale ekivvulu kya Saha kibeewo, Winnie wa Mummy yakwatibwa bwe yali ne King Saha era poliisi n’etegeeza nti omukyala Rachel Kente yali amugguddeko omusango gw’okukozesa obubi omutimbagano n’amuvvoola.
King Saha ensonga yaziyingiramu Winnie wa Mummy n’ayimbulwa ne bayimba bombi ku kivvulu ekyo. Winnie, asabye King Saha nti ekintu bakite bwe kiba kigaanye era nti ye ayagala kubeera na ffamire ye.