Kasalabecca

DJ Shiru atabudde ekyuma ne bamatira!

DJ SHIRU ayongedde okulaga amaanyi mu kivvulu kye ekya Shirumatic Experience 2026. Ekivvulu kino kyabadde ku Climax e Makindye era abadigize baakijjumbidde ne bamukooneramu nti ye nnamba emu mu kutabula emiziki.

DJ Shiru atabudde ekyuma ne bamatira!
By: Musa Ssemwanga, Journalist @New Vision

DJ SHIRU ayongedde okulaga amaanyi mu kivvulu kye ekya Shirumatic Experience 2026. Ekivvulu kino kyabadde ku Climax e Makindye era abadigize baakijjumbidde ne bamukooneramu nti ye nnamba emu mu kutabula emiziki.


Ng’ayingirawo, abawagizi baakubye enduulu okumwaniriza era n’atabula ekyuma, myuziki n’ayingira abadigize mu busomyo ne bava mu butebe ne babiibya. 

 

Yatabudde myuziki wa wano nga bw’agattamu ow’Abazungu mu ngeri y’okukakasa nti buli eyabaddewo asanyuka. Jose Chameleone yabaddewo okubugiriza munywanyi we ate abayimbi abalala nga Paasita Wilson Bugembe, Ava Peace n’abalala ne basanyusa abantu. 

 

DJ Shiru yeebazizza abawagizi be olw’okumulaga omukwano n’abakakasa nti ekyuma akyakitabulira ddala.

Tags:
DJ Shiru
Kutabula
Muziki
Kyuma
Kumatira