TOP

Sijja kuwasa mukazi anyumirwa Bachameleone ne Bobi Wine- Evans

Added 1st July 2013

WADDE omuyimbi Chris Evans yeegulidde erinnya mu kuyimba ennyimba z’omukwano ezibagula n’abakadde nga Nalule, naye ye Katonda akyagaanyi okumusumululira ensonga ze ez’omukwano. Bwe yabadde akwata vidiyo y’oluyimba lwe olupya ‘Nsaasira ojje eno’ yannyonnyodde Hafswa Nankanja ne Ronald Mubiru ku kikWADDE omuyimbi Chris Evans yeegulidde erinnya mu kuyimba ennyimba z’omukwano ezibagula n’abakadde nga Nalule, naye ye Katonda akyagaanyi okumusumululira ensonga ze ez’omukwano. Bwe yabadde akwata vidiyo y’oluyimba lwe olupya ‘Nsaasira ojje eno’ yannyonnyodde Hafswa Nankanja  ne Ronald Mubiru ku kikyamulemesezza okufuna omubeezi. 

Ani gwe wali weegayirira okukusaasira mu luyimba lwo? 

Muwala gwe ng’amba nga tabifaako yeebuzaabuza. Nduyimbidde abantu ng’oliko gw’oyagala kyokka ng’otya okumwatulira, Osobola okugula ka teepu kano n’okamuwa ng’ekirabo era naye bw’aluwuliriza amanyirawo nti omwagala. 

Ky’ogamba olina omuntu akulumya obwongo nga sigino z’omukwano taziraba?

Kituufu gy’ali era akyebuzaabuza. 

Omwanjulira ddi abantu?  

Omusajja si y’alina okwanjula, omuwala namusaba dda annyanjule mu bazadde be kyokka n’ansaba mmuweeyo akadde kati simanyi we kanaggweerako ate eby’omukwano tebakaka muntu. 

Kiki ky’osuubira mu mukyala gwe wandyagadde?  

Ng’asobola okubeera nange ne bwe mba sikyalina linnya. Saagala bawala ba kweraga. 

Ekirala nze saagala muwala mulungi nnyo. Njagala nga waakiri ali wakati awo. Abo abalungi balwaza puleesa. Okugeza omuwala afaananako abo be tuteeka mu vidiyo nze siyinza kumuwasa kuba obulungi bwabwe buli muntu abeera abwegomba ng’era naye akimanyi. Anti buli lw’atambulako omutima naawe tosigaza. Saagala mukyala amboggolera wadde omuyombi. Omukyala omubuulirire atuuza bba n’amugamba ekimunyiizizza so tamuboggolera naddala mu bantu. 

Njagala omukyala nga wa waka so si wa bivvulu. nga ne bw’oba omugambye nti Chamili yaleese oluyimba lwa Valu Valu ng’akuddamu na kibuuzo nti, Kozzi Chamiili ye yayimba Kamwako? Kweggamba ng’abulwa enjawulo wakati wa Bebe ne Bobi wamu ne Chamili. Oyo gwe njagala. Oyo aba ajja kufumba n’omutima gumu. 

Hha.., Ku mulembe guno Omutebi omukyala ng’oyo ogenda kumuggya wa?  

Abawala gyebali era n’oyo gwe nkugambye eyansaba mmuweeyo akadde bw’ali. Ye na kati tamanyi luyimba lwange lupya. Tamanyi nti waliyo n’oluyimba lwa Evans oluyitibwa Bw’olonda.

E Maama nga olina ebbuba! Wakulira mu kyalo?

Nedda, nze nakulira Katale Busaawula e Sseguku ku luguudo lw’e Ntebe. 

Bazadde bo be baani? 

Omwami Christopher Kakooza ne Jane Nabwami Ng’ekiseera kino bombi bagenzi. Maama saafuna mukisa gumulabako nagenda okukula nga bang’amba nti yafa. Taata yafa ndi mu P.7 nga ndi wa myaka 13. 

Embeera yakuyisa etya nga bafudde? 

Taata bwe yafa tetwalina kusalawo kwonna okuggyako okugenda ewa jjajjaffe azaala taata  Onesimous Kasumba ng’abeera Sseguku.   Twali bangi ewa jajja nga tusukka mu 15. Jajja yakola olukiiko lw’ekika n’ekigendererwa nti buli muntu waakiri anaatwalako omwana. Nze waliwo omwami eyantwala Mw. Kalule Mutuuze w’e sseguku. Yalina abaana be abakulu era nze nga mmuyita jajja.  Yagezaako okumpeerera mu S.1 n’alemererwa olwa ssente. Omwami ono yansigira mukwano gwe Arnest Kakulira eyalina essomero lya Masooli S.S e Kasangati omwami ono n’anzikiriza okusomera mu ssomero lye ku bwereere kyokka nga nkuba bbulooka, okukuba bbulooka n’okuzimba ebibiina mu ngeri y’okusasula mu fiizi zange. Nasomerayo okutuuka mu S.4 era gye natandikira okuyimba.

Kiki ekikuvuga okuyimba?  

Okuva edda nga nneegomba omugenzi Elly Wamala, Mayinja, ne Bugembe. Taata yagulanga teepu zaabwe zokka era nze nakula mmanyi abo bokka nga ne bye bayimba binnyumira. 

Weeraba wa mu myaka 30 mu maaso? 

Emyaka 30 otutte wala Mu myaka 5 mu maaso nja kuba sikyagenda mu bivvulu bya lukale, nga nnina ekifo ekyange nga Evans eky’obwanannyini nga buli muwagizi anyumirwa ennyimba zange gy’alina okunsanga. Nja kusalawo olunaku lumu lumu mu buli mwezi mbakube emiziki mu kifo kyange nga we nkyaza n’abayimbi abalala.  Ekifo kino kijja kunnyamba n’okuwa abaana abato mu kuyimba omwagaanya okusobola nabo okweyagalira mu myuziki. 

Kyekango ki mu bulamu bwo ekyali kikutuuseko nga naawe olaba kyakusukkkako? 

Kya muzimu gwa taata ogwanzijira mu kirooto nga gungoba awaka we nali ewa Mw. Kasule eyali antutte okunkuza. Ekiseera ekyo nali wa myaka 13 omuzimu ne gungamba nti vaawo mangu wano, ogenze okulaba nga w’oteekeddwa okubeera?  natya naye olwokuba abantu be nalimu nali mbatya, tewali gwe nnabuulirako era nafa kisiiri. Naguma okutuusa lwe gwalekera awo okunzijira era ne nkuzibwa omwami oyo bulungi. 

Singa oweebwa omukisa okukyusa mu bulamu bwo, kiki kye wandikyusizza?

Nandikomezzaawo omugenzi Elly Wamala waakiri ne mmukwatako mu ngalo kuba kyannuma nnyo okulaba nti saamutuukirirako maaso ku maaso wadde okugendako mu bivvulu bye. 

Ggwe olowooza otya?

Chris Evans alina bbuba oba endowooza ye ku bakazi ntuufu Weereza endowooza yo ku nnamba ya ssimu  8338. Wandiika ekigambo Famire olekewo akabanga owandiike ky’olowooza oweereze.

Sijja kuwasa mukazi anyumirwa Bachameleone ne Bobi Wine- Evans

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

DERRICK ORONE naye alaze by...

Yawangudde eky'omubaka wa Gogonyo mu disitulikiti y'e Pallisa. Aludde mu nsiike y'okuyimba era abaddeko maneja...

GEOFFREY LUTAAYA alaze byat...

GEOFFREY LUTAAYA Sisobola kuva mu kuyimba kuba kwe kunfudde Lutaaya ensi gw'emanyi naye olw'obuvunaanyizibwa kati...

Ebyakwasizza Dr Lulume mu k...

OMUBAKA wa Buikwe South eyaakalondebwa Dr. Lulume Bayiga n'abantu abalala mwenda baakwatiddwa poliisi y'e Nyenga...

'Siri mwangu buli ankubyeek...

EYAGAANYE okusasula ssente z'entambula bamutabukidde ne bamwambula ne bamutwala ku poliisi gye yeekoledde obusolo...

Ssaabasumba asabye Gavument...

SAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala Dr.Cyprian Kizito Lwanga awadde Pulezidenti Museveni amagezi okusoosowaza...