“Pulezidenti yang’ambye nti basajja bange mu kitundu kino tebafuddeeyo kukola ku nsonga eziruma abatuuze,†Kayihura bwe yagambye.
Ku Lwokutaano, ssentebe wa NRM mu Masaka, Peter Senkungu yasinzidde mu kisaawe e Kitengeesa mu Ggombolola y’e Buwunga n’aloopera Pulezidenti Museveni ng’abawagizi ba Namayanja bwe basusse okutulugunya aba NRM ate bwe baloopera poliisi terina ky’ekolawo.
Â
Abawagizi ba Namayanja baalumirizza abawagizi ba Nsambu okubatulugunya sso nga n’abawagizi ba Nsambu balumiriza nti aba Nama-yanja be basinga okubatulugunya nga babakuba emiggo.
  Â
Kayihura yalagidde basajja be okuva ku kitebe kya poliisi e Masaka okutandika okulawuna Masaka yonna okukakasa nga tewali muntu n’omu atuusibwako bulabe.
  Â
Ye Haji Buulu Katale nga ye mumyuka wa Pokino yategeezezza Kayihura nti kirungi abantu bonna abeesimbyewo bakozese akadaala ke kamu okuyiggirako obululu kisobozese okumalawo abamu okusiiga bannaabwe enziro mu bintu ebitaliimu.
Â
Wadde nga Katale amanyiddwa nti muwagizi wa NRM, kyokka mu kalulu ka Bukoto East awagira Namayanja owa DP era ne ku kadaala ka Namayanja asabirako akalulu ka Museveni.
Kayihura ayingidde mu nkaayana z’e Bukoto