TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ab'e Lukaya bakoze ekimeeza ne bacoomera ababakulira

Ab'e Lukaya bakoze ekimeeza ne bacoomera ababakulira

Added 13th December 2011

EMIRIMU egikolebwa gaddibengalye mu Lukaya Town Council mu Kalungu gyogezza abatuuze ebikankana ne bassa abakulembeze ba Gavumenti ku nninga babannyonnyole ssente ze bafuna kye zikola.

Bya S. Baagalayina

EMIRIMU egikolebwa gaddibengalye mu Lukaya Town Council mu Kalungu gyogezza abatuuze ebikankana ne bassa abakulembeze ba Gavumenti ku nninga babannyonnyole ssente ze bafuna kye zikola.

Enguudo ezijjudde ebinnya ebiregamyemu amazzi n’eza kkoolaasi ezikolebwa obubi, bye bisinze okwereeza abatuuze ebikya. Kkoolaasi akubwa mu nguudo ezikolebwa Lukaya Town Council ng’olwa Juma Road olulagibwa mu bajeti nti lwasasaanyizibwako bukadde na bukadde bwa ssente, baamuyise malyansimbi g’abekussa bokka.

Beebuuzizza kkoolaasi wa kika ki afukirirwa n’ebikopo obukopo ng’eno bwe bamansa amayinja n’ebitiiyo kye bagambye nti kivuddeko awakoleddwa okwonooneka mu nnaku ntono.

Olwa Kiti Road lwabatabulidde ddala ne balusimbamu ebitooke n’okulussaamu emisanvu ne baluziba nti kino kinaawaliriza abakulembeze baabwe okulujjukira kuba lubatadde mu kattu k’ebyenkulaakulana n’okutya ebidiba okubattira abaana.

Enguudo empya ezigguddwawo mu Lukaya okumugaziya ng’olwabbuddwamu Kaguta Road n’endala nti zaabaddemu okuyiikiriza bannyini bibanja mwe zaayisiddwa ne bataliyirirwayo wadde ekikumi mu bintu byabwe ebyonooneddwa.

Olwa mwasanjala (Kampala, Masaka, Mbarara), ekitongole ky’ebyenguudo ekya UNRA baakikiidde ensingo  nti mu kabuga kaabwe (Lukaya) baalufunzizza nnyo ne batassaamu mabanga mmotoka mwe zisobola kuyimirirako kubaako bye zibagulako nga mu bibuga ebirala.

Kuno baagasseko nti mu kifo ky’okussa ebigoma ku mifulejje gy’amazzi awakutulira abantu n’emmotoka nti basizaamu buddinda bwa sseminti ate obunafu obwatandikiddewo okwatika nga bwe buggwamu.

Bino baabyogeredde mu lukiiko olwefaanaanyirizaako ‘Ekimeeza’ nga lwakubiriziddwa abakungu abaavudde mu ofiisi ya Katikkiro, Amama Mbabazi nga baakulembeddwaamu  Sansa Mugenyi.  Ekimeeza kyakubiriziddwa RDC e Kalungu,  Tom Sserwanga.

Ku ky’enguudo z’e Lukaya, enninga baagitadde ku Town Clerk James Luyimbaazi, yinginiya David Mugagga ne Meeya Gerald Majera Ssenyondo nti be babakolera emirimu gadibengalye.

Ku by’obulamu, abatuuze baasabye Gavumenti ebalowoozeeko ku ddwaaliro ly’e Bbulakati eriri mu mbeera embi etakyawonya wabula okwongera okulwaza abalwadde naddala mu mateniti.

bagamba nti eky’eddagala ettono bandikigumidde nti naye n’obuzimbe bwennyini bukaddiye n’engalama ezaabussibwamu zaawomoggoka ng’obuwundo bufukira abalwadde.

Akulira abakozi mu Kalungu, Muky. Lillian Nakamate baakimutaddeko nti talondoola mirimu gy’assaako ssente ekivaako abagiweereddwa okwekolera nneemalidde olwo ssente za gavumenti ne zifa ttoge.

Ebyenjigiriza, enninga baagitadde kw’abikulira, Mariam Menhya ne yinginiya Robert Kaweesi bannyonnyole ekivaako kaabuyonjo ezaakakolebwa okuggwamu na lwaki batadde obukadde 46 ku kuzimba ebisenge bibiri byokka ku ssomero ly’e Kamuwunga ng’abayizi tebalina kaabuyonjo.

 

Ab’e Lukaya bakoze ekimeeza ne bacoomera ababakulira

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Poliisi ng’etwala Galabuzi (ku mpingu) ne mukyala we (ku ddyo) ku poliisi.

Babakutte kutulugunya mwana

ABATUUZE b’e Mbuya Kinnawattaka- Katoogo bavudde mu mbeera ne batabukira abafumbo abaludde nga batulugunya omwana...

Mugula ng’akutte amagi amafu ge baabakutte nago. Mu butono nabo baakwatiddwa.

Abagula amagi amafu ne bako...

POLIISI y’e Katwe ekutte abasajja bana abagambibwa okugula amagi amafu ne bakolamu keeki ze baguza abantu e Nateete....

Abazannyi ba Police nga bajaganya.

Police efunvubidde ku kikopo

Airtel Kitara 2-3 URA Police 3-1 Onduparaka UPDF 2-0 Mbarara City POLICE FC obusungu bw’okukubwa Vipers ebumalidde...

Derrick Kakooza, eyateeba ggoolo ey'obuwanguzi ku Mauritania.

Hippos erwanira World Cup

Leero mu Africa U-20 Cup of Nations (Quarter) Cameroon -Ghana,1:00 Burkina Faso - Hippos, 4:00 ez'ekiro ...

Dorothy Nambi ng’ayigiriza omwana alina obukosefu okulabirira ennimiro.

Kw'olabira omwana alina obu...

Alwawo okwogera. Tasobola kuyiga bintu bya bulijjo ng’okuseka, okuba n’emikwano. lAtya nnyo naddala abantu abatali...