
Bya S. Baagalayina
EMIRIMU egikolebwa gaddibengalye mu Lukaya Town Council mu Kalungu gyogezza abatuuze ebikankana ne bassa abakulembeze ba Gavumenti ku nninga babannyonnyole ssente ze bafuna kye zikola.
Enguudo ezijjudde ebinnya ebiregamyemu amazzi n’eza kkoolaasi ezikolebwa obubi, bye bisinze okwereeza abatuuze ebikya. Kkoolaasi akubwa mu nguudo ezikolebwa Lukaya Town Council ng’olwa Juma Road olulagibwa mu bajeti nti lwasasaanyizibwako bukadde na bukadde bwa ssente, baamuyise malyansimbi g’abekussa bokka.
Beebuuzizza kkoolaasi wa kika ki afukirirwa n’ebikopo obukopo ng’eno bwe bamansa amayinja n’ebitiiyo kye bagambye nti kivuddeko awakoleddwa okwonooneka mu nnaku ntono.
Olwa Kiti Road lwabatabulidde ddala ne balusimbamu ebitooke n’okulussaamu emisanvu ne baluziba nti kino kinaawaliriza abakulembeze baabwe okulujjukira kuba lubatadde mu kattu k’ebyenkulaakulana n’okutya ebidiba okubattira abaana.
Enguudo empya ezigguddwawo mu Lukaya okumugaziya ng’olwabbuddwamu Kaguta Road n’endala nti zaabaddemu okuyiikiriza bannyini bibanja mwe zaayisiddwa ne bataliyirirwayo wadde ekikumi mu bintu byabwe ebyonooneddwa.
Olwa mwasanjala (Kampala, Masaka, Mbarara), ekitongole ky’ebyenguudo ekya UNRA baakikiidde ensingo nti mu kabuga kaabwe (Lukaya) baalufunzizza nnyo ne batassaamu mabanga mmotoka mwe zisobola kuyimirirako kubaako bye zibagulako nga mu bibuga ebirala.
Kuno baagasseko nti mu kifo ky’okussa ebigoma ku mifulejje gy’amazzi awakutulira abantu n’emmotoka nti basizaamu buddinda bwa sseminti ate obunafu obwatandikiddewo okwatika nga bwe buggwamu.
Bino baabyogeredde mu lukiiko olwefaanaanyirizaako ‘Ekimeeza’ nga lwakubiriziddwa abakungu abaavudde mu ofiisi ya Katikkiro, Amama Mbabazi nga baakulembeddwaamu Sansa Mugenyi. Ekimeeza kyakubiriziddwa RDC e Kalungu, Tom Sserwanga.
Ku ky’enguudo z’e Lukaya, enninga baagitadde ku Town Clerk James Luyimbaazi, yinginiya David Mugagga ne Meeya Gerald Majera Ssenyondo nti be babakolera emirimu gadibengalye.
Ku by’obulamu, abatuuze baasabye Gavumenti ebalowoozeeko ku ddwaaliro ly’e Bbulakati eriri mu mbeera embi etakyawonya wabula okwongera okulwaza abalwadde naddala mu mateniti.
Ne bagamba nti eky’eddagala ettono bandikigumidde nti naye n’obuzimbe bwennyini bukaddiye n’engalama ezaabussibwamu zaawomoggoka ng’obuwundo bufukira abalwadde.
Akulira abakozi mu Kalungu, Muky. Lillian Nakamate baakimutaddeko nti talondoola mirimu gy’assaako ssente ekivaako abagiweereddwa okwekolera nneemalidde olwo ssente za gavumenti ne zifa ttoge.
Ebyenjigiriza, enninga baagitadde kw’abikulira, Mariam Menhya ne yinginiya Robert Kaweesi bannyonnyole ekivaako kaabuyonjo ezaakakolebwa okuggwamu na lwaki batadde obukadde 46 ku kuzimba ebisenge bibiri byokka ku ssomero ly’e Kamuwunga ng’abayizi tebalina kaabuyonjo.
Ab’e Lukaya bakoze ekimeeza ne bacoomera ababakulira