TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kayihura ayingidde mu nkaayana z’e Bukoto

Kayihura ayingidde mu nkaayana z’e Bukoto

Added 31st January 2011

Kayihura okugenda e Nkuke,  yamaze kufuna biragiro okuva ewa Pulezidenti eyabadde yeemulugunya nti wadde ng’abantu mu kitundu kino bakoze lipoota eziwerako ku kutulugunyizibwa, naye poliisi terina ky’ekozeewo.

“Pulezidenti yang’ambye nti basajja bange mu kitundu kino tebafuddeeyo

Kayihura okugenda e Nkuke,  yamaze kufuna biragiro okuva ewa Pulezidenti eyabadde yeemulugunya nti wadde ng’abantu mu kitundu kino bakoze lipoota eziwerako ku kutulugunyizibwa, naye poliisi terina ky’ekozeewo.

“Pulezidenti yang’ambye nti basajja bange mu kitundu kino tebafuddeeyo kukola ku nsonga eziruma abatuuze,” Kayihura bwe yagambye.
Ku Lwokutaano, ssentebe wa NRM mu Masaka, Peter Senkungu yasinzidde mu kisaawe e Kitengeesa mu Ggombolola y’e Buwunga n’aloopera Pulezidenti Museveni ng’abawagizi ba Namayanja bwe basusse okutulugunya aba NRM ate bwe baloopera poliisi terina ky’ekolawo.
 
Abawagizi ba Namayanja baalumirizza abawagizi ba Nsambu okubatulugunya sso nga n’abawagizi ba Nsambu balumiriza nti aba Nama-yanja be basinga okubatulugunya nga babakuba emiggo.
   
Kayihura yalagidde basajja be okuva ku kitebe kya poliisi e Masaka okutandika okulawuna Masaka yonna okukakasa nga tewali muntu n’omu atuusibwako bulabe.
   
Ye Haji Buulu Katale nga ye mumyuka wa Pokino yategeezezza Kayihura nti kirungi  abantu bonna abeesimbyewo bakozese akadaala ke kamu okuyiggirako obululu kisobozese okumalawo abamu okusiiga bannaabwe enziro mu bintu ebitaliimu.
 
Wadde nga Katale amanyiddwa nti muwagizi wa NRM, kyokka mu kalulu ka Bukoto East awagira Namayanja owa DP era ne ku kadaala ka Namayanja asabirako akalulu ka Museveni.

Kayihura ayingidde mu nkaayana z’e Bukoto

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kakooza Mutale

Mutale awabudde Museveni: '...

MAJ. Kakooza Mutale awabudde Pulezidenti Museveni nti ekya NRM okuwangulwa mu Buganda si kubeera basosoze mu mawanga,...

Katebalirwe

'Gavumenti yabadde ntuufu o...

AKAKIIKO k'eddembe ly'obuntu kayise ba agenti b'abeesimbyewo abaakwatiddwa oba okutaataaganyizibwa ku lunaku lw'okulonda,...

Ssebunnya

Ssebunnya alambuludde ebyas...

OMUWABUZI wa Pulezidenti Museveni ku nsonga za Buganda, Robert Ssebunnya avuddeyo n'ayogera ku mbeera y'ebyokulonda...

Nabirah.

Omuliro mu kalulu ka Bammeeya

BANNAKAMPALA basuze mu keetereekerero okulonda Loodi Meeya wabula ekibuuzo ekiri mu bantu kiri kimu: Erias Lukwago...

Bano baabadde ku boodabooda nga batwala omulwadde mu ddwaaliro.

Basonze ku kyasuddeMuseveni...

ABATUUZE mu disitulikiti y'e Mayuge n'abakulembeze boogedde lwaki Robert Kyagulanyi Ssentamu ‘Bobi Wine' owa NUP...