TOP

Ab'e Lwengo balumbye abakulembeze baabwe mu NRM

Added 31st January 2012

Abakulembeze ba NRM mu disitulikiti y’e Lwengo baatulidde ssentebe waabwe mu disitulikiti ng’ekibiina bwe kyolekedde okusaanawo olw’abakulembeze ab’oku ntikko obutakissaamu kitiibwa.

Bya Ali Mambule

Abakulembeze ba NRM mu disitulikiti y’e Lwengo baatulidde ssentebe waabwe mu disitulikiti ng’ekibiina bwe kyolekedde okusaanawo olw’abakulembeze ab’oku ntikko obutakissaamu kitiibwa.

Bano baabadde bakung’aanidde mu maka ga ssentebe w’ekibiina kyabwe mu disitulikiti y’e Lwengo era nga ye mubaka wa Bukoto South mu palamenti, Hajj Muhammad Muyanja Mbabaali agali e Kiwanyi mu ggombolola y’e Kingo ne bategeeza nti kati NRM esigadde mu lusuubo na mu bigambo olw’abakulembeze aba waggulu obuteefiirayo ku bigenda mu maaso mu ggwanga.

Baakungaanye kukubaganya birowoozo ku ngeri ekibiina kyabwe gye kizze kitambulamu okuva nga February 18, 2011 okulonda kwa bonna lwe kwaliwo okutuusa olwaleero n’okumanyisibwa omubaka waabwe ebyabadde mu lusirika lw’ababaka ba palamenti e Kyankwanzi.

Hajji Mbabaali yennyamidde olw’abakulembeze wamu ne Bannayuganda bonna okutwalira awamu okutunuuliranga abakulembeze ab’oku ntikko bokka nti be babbi era abali b’enguzi sso nga ne wansi okuviira ddala ku byalo omuze guno gyeguli.

“Kikyamu okutunuuliranga aba waggulu bokka sso nga nammwe wansi ku byalo, mu magombolola ku disitulikiti ne mu maka gammwe obubbi n’obuli bw’enguzi bufuukidde ddala baana baliwo,” Hajji Mbabaali bwe yategeezezza abaabadde mu lukiiko.

Yawadde ekyokulabirako ky’abatuuzen b’e Kaswa abamu ku bbo gye baali
bagaanye okutwalayo poliisi so ng’eriyo emize gy’obubbi bw’embuzi, enkoko, emmere n’okuyingirira amaka g’abantu.

Ab’e Lwengo balumbye abakulembeze baabwe mu NRM

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Eyeefudde agula essimu n'ag...

Bya Rosemary Nakaliri  Abasuubuzi b'oku Kaleerwe baazingizza ababbi abeefudde bakasitoma abazze okugula essimu...

Kayemba n'ensawo ye emweyagaza.

Kyama ki ekiri mu bbulifukk...

Geoffrey Kayemba Ssolo avuganya ku kifo ky’omubaka wa Bukomansimbi South ensawo ya Jjajja we emweyagaza.

Minisita Kibuule mu ssuuti ng'atongoza okusimba emiti gy'amasannyalaze.

Ab'e Nama bawonye okusula m...

Abatuuze mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono bafunye akaseko ku matama bwe babawadde amasannyalaze...

Kasingye ng'akwasa Omusumba Jjumba masiki.

Poliisi n'amagye byetondedd...

POLIISI n'amagye byetondedde Omusumba w'e Masaka eyawummula John Baptist Kaggwa (mu kifaananyi ku ddyo) olw'okukuba...

Buchaman ne mukyala we nga bakwasa abaserikale ebyambalo by'amagye.

Buchaman awaddeyo ebyambalo...

OMUWABUUZI wa Pulezidenti ku nsonga za Ghetto, Mark Bugembe amanyiddwa nga Buchaman akwasizza ab’ebyokwerinda ebyambalo...