TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Haji n'omwana basibiddwa myaka lwa kutta wa bodaboda

Haji n'omwana basibiddwa myaka lwa kutta wa bodaboda

Added 4th September 2012

MAAMA w’omuvuzi wa bodaboda Geofrey Kazoora eyattibwa e Lukaya n’anyagibwako pikipiki alaze obutali bumativu ku kibonerezzo ekyaweereddwa abatemu.

Bya SSENNABULYA. BAAGALAYINA

MAAMA w’omuvuzi wa bodaboda Geofrey Kazoora eyattibwa e Lukaya n’anyagibwako pikipiki alaze obutali bumativu ku kibonerezzo ekyaweereddwa abatemu.

Kellen Tigaine omutuuze ku kyalo Kakwanzi-Kitti e Bukulula, mu Kalungu yeegattiddwaako abooluganda lwe abaategeezezza bwe bagenda okujulira mu kkooti esingako.

AB’E LUKAYA BATOLOTOOMA

N’abatuuze b’e Lukaya omugenzi gye yali akolera nabo batolotoomye nti kkooti enkulu e Masaka yasaasidde nnyo abasibe n’ebawa ekibonerezo ky’olusaago.

Bagattako nti n’okwejjeerezza abasibe abasatu nga bwiino alaga bwe beetaba mu kikolwa kino nti nakwo kwabadde kubasindika mu nsi bagende mu maaso n’okutta abalala.

Wiiki ewedde, omulamuzi Vincent Kibuuka Musoke yasingisizza ddereeva Bashiru Mwanje emisango ebiri ogw’okukuba obwakkondo n’okutta omuntu gwe yazza nga May 20, 2008 bwe yatta Kazoora n’atwala ne pikipiki.

Yasingisizza Hajji Muhamad Ssekyewa omusango gw’okutereka ekibbe ng’asoose okumwejereza ogw’obwakondo n’okutta egimumazizza ku limanda emyaka ena nga gimuvunaanibwa ku fayiro emu n’abaana.

BANO ABEJJEEREZZA

Ate abaana ba Hajji Ssekyewa abalala okuli: Authman Kalungi, Sulait Ssenfuka ne Muhamood Lubowa bano omulamuzi yabajjeerezza emisango gyombi n’abayimbula ng’agamba nti obujulizi obubaluma tebumala.

Abasibe baasimbiddwaako mu maaso g’abalamuzi okuli: Moses Katorogo, H.K Mugerwa n’abalamuzi abakulu Mike J.Chibita ne Kibuuka Musoke eyagukubidde.

Kibuuka Musoke yategeezezza nti abajulizi b’oludda oluwaabi 13 okuli ne bofiisa ba poliisi n’abantu ba bulijjo n’omusawo eyeekebejja omulambo baawadde obujulizi obwakakasizza kkooti nti ddala Kazoora yattibwa mu bukambwe n’atemwako n’omutwe.

Omulamuzi n’ategeeza nti ettemu lino lyakolebwa mu May nga 20, 2008 ku kyalo Kakwanzi e Lukaya mu Kalungu, Kazoora bwe yazuulwa nga mufu oluvannyuma lw’ennaku 10 ng’abuziddwawo.

Kazoora yabuzibwawo ne pikipiki etaaliko nnamba nga yali emuweereddwa Godfrey Luutu agisaabalizeeko abantu.

Mu nnaku ntono, Ediriisa Mugerwa n’alaba pikipiki y’emu mu kabuga k’e Bukomansimbi mu galagi ya Ssemanda nga Hajji Ssekyewa ne mutabani we Mwanje baginoonyezza abaguzi.

Ku nkomerero, Pikipiki yazuulwa ewa Godfrey Yiga ng’ono ye Ssentebe wa LCI ow’ekyalo Nanjwenge-Kalwanga e Kifampa mu Ggombolola y’e Kabulassoke mu Gomba era Yiga obujulizi yabuwadde nti pikipiki eno yali emusingiddwa olw’ebbanja lye yali abanja Ssekyewa.

OMU YE YALONKOMA BANNE 

Omulamuzi Musoke n’agamba nti bino byonna byasoboka okutuukibwako oluvannyuma lw’omuwawaabirwa nnamba bbiri, Bashiru Mwanje okussa ettemu lino mu musana, kennyini bwe yakulemberamu poliisi n’agitwala mu nsiko we bakweka omulambo gwa Kazoora.

Omulamuzi ategeezezza nti Mwanje yalukira poliisi olukwe lwonna bwe lwatambula mu kubba n’okutta Kazoora n’aluma kitaawe Hajji Ssekyewa, Kalungi, Ssenfuka ne Lubowa nti beetaba mu kutta omwana wa bandi.


Abejjeerezeddwa: Uthman Kalungi (ku kkono), Sulait Ssenfuka ne Muhamood Lubowa nga bafuluma kkooti n’akaseko ku matama.

EBITULI MU BUJULIZI

Omulamuzi Musoke agamba nti Mwanje sitatimenti eno bw’atuuka okwewozaako n’agyegaana nti yakakibwa okugissaako omukono naye ye nga tattanga ku muntu.

Agasseeko nti kituufu Kazoora yafa n’okufa kwe kwakolebwa mu bugenderevu okusinziira ku Dr. Bawakanya Mayanja eyakakasa nti yasalibwa n’ekiso, omutwe ne guggyibwako n’omulambo gwe ne guyiibwako ebifutafuta.

Ensonga ezitunuuliddwa kkooti tezimmuse bulungi kugisobozesa kumeggesa basibe bonna abataano musango kuba obujulizi bwa Mwanje bwokka mw’assiza basibe banne mu musango. N’agamba nti okumalawo akakunkuna, oludda oluwaabi lubadde n’omulimu gw’okuvaayo n’obujulizi obwalwo nti bonna abataano beetaba mu kikolwa ky’okubba n’okutta Kazoora.

Omulamuzi Musoke agamba nti, talina bujulizi we bumukwasirizza mu katego ka kwetaba mu bwa kkondo n’okutta wabula ogumumezze gwa kusingibwa ne pikipiki enzibe.

Ku Mwanje n’agamba nti emisango gimukka mu vvi olw’ensonga kennyini ye yatwala poliisi obutemu we bw’akolebwa n’agiraga n’omulambo wadde nga yakissa ku Kalungi nti ye yafumita omugenzi ekiso nga ye (Mwanje), Ssenfuka ne Lubowa bwe bakutte emikono.

Buno kkooti ebutwala ng’olugambo era buba bunafu olw’ensonga nti omusibe ali mu kaguli ke kamu ne banne teri ngeri gy’abuuzibwa bibuuzo n’olwekyo temuli kinyusi kirippa Kalungi mu musango bw’atyo n’amwejjeereza.

Ate Ssenfuka ne Lubowa bano yakkiriziganyizza n’okukubira kw’abayambi ba kkooti “Baseesa” nti nabo obujulizi mpaawo bubatadde mu musango era n’abejjeereza.

EBIBONEREZO BYABWE

Puliida wa Gavumenti, Peter Mugisha Bamwiine ng’akubira yasabye kkooti ewe Mwanje ekibonerezo ekisembayo eky’okuwanikibwa ku kalabba olw’okubbisa eryaanyi n’okutta Kazoora kikange n’abalala abatta aba bodaboda.

Bamwine n’agattako nti ne Hajji Ssekyewa asibwe emyaka 14 wabula omulamuzi n’amusiba emyaka 8 gyokka ate Mwanje n’amusiba emyaka 15 ku gw’okutta n’emyaka 12 ku gwa kkondo.

Ebibonerezo bino bitabudde omuzadde Tigaine n’abantu be ne bategeezza nti ensala ya kkooti ebaddemu kyekubiira n’etalumirirwa bulamu bwa mugenzi.

Abatuuze baagambye nti ebibonerezo ebinafu ebiweebwa abasingisiddwa emisango gy’okutta bimalamu abantu amaanyi n’okuggyamu ekitongole ekiramuzi obwesige ne batwalira amateeka mu ngalo.

 

Haji n’omwana basibiddwa myaka lwa kutta wa bodaboda

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abasiraamu nga banyumyamu.

Bayimamu twemweyingiza mu b...

DISITULIKITI Khadi w’e Lwengo, Sheikh Ismail Ibrahim Kibuule asisinkanye Abasiraamu okuva mu mizigiti egy’enjawulo...

Pasita Caleb Tukaikiriza ng'ayogera mu lukiiko. Ku ddyo ye Bbaale.

Abawala 300 mu Kalungu bazz...

OMUBAKA wa Gavumenti, Pastor Caleb Tukaikiriza agugumbudde abazadde abatatuukirizza buvunaanyizibwa bw’okukuuma...

Abazannya ‘Bizzonto’ nga beegezaamu.

Abazannya komedi wa 'Bizzon...

POLIISI ezzeemu okukwata abasajja abazannya komedi wa ‘Bizzonto’ ne basimbibwa mu kkooti ya Buganda Road gye babasomedde...

Kluthum

Kluthum ayogedde ku katambi...

MUKYALA wa Sheikh Muzaata Batte, Kluthum Nabunnya ayogedde ku katambi akaamutabula ne bba bwe yali ayogera ne ‘hawusibooyi.’...

Bannamateeka ba Kyagulanyi okuli Medard Lubega Sseggona ( ku kkono), Muwanda Nkunnyingi ne Sam Muyizzi.

Kkooti esazeewo ku gwa Kyag...

KKOOTI ekkirizza Kyagulanyi okuggyayo omusango gw’obululu gwe yawaaba wabula abalamuzi baakuwa ensala yaabwe ku...