TOP

Envubu esse omulunyanja

Added 5th April 2013

ABATUUZE mu ggombolola y’e Bumira mu disitulikiti y’e Kalangala baafunye ekikangabwa envubu bwe yagoyagoyezza omuvubi ku mwalo gw’e Kkaaya n’emutta nga batunula.

 

 

 

Bya Maria Nakitende

ABATUUZE mu ggombolola y’e Bumira mu disitulikiti y’e Kalangala baafunye ekikangabwa envubu bwe yagoyagoyezza omuvubi ku mwalo gw’e Kkaaya n’emutta nga batunula.

Julius Kateregga envubu yamusangirizza mu lyato ng’avuba. Yalaajanye nga n’abatuuze bwe bakuba enduulu kyokka ne watabaawo asobola kwetantala nvubu eyabadde eswaakidde.

Ssentebe w’omwalo gwe Kachanga, Moses Kazibwe yategeezezza nti kino baakitadde ku batwala disitulikiti, poliisi ne be kikwatako abalala be balaajanidde okumala ebbanga okubayamba okutta envubu zino ezaakatta kati abantu 10 mu bbanga ttono naye ne watabaawo kikolebwa.


Yagambye nti baali bafunye omuntu amanyi okutta envubu obulungi naye ab’obuyinza nebamubagobya nga bagamba nti bo balina abaabwe abakkirizibwa mu mateeka.


Envubu esse omulunyanja

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abadde avuganya ku bwa Kana...

JOE Lumu  ayesimbyewo ku bwa kansala  ajja kulwawo ng'alojja akalulu olw'ekibinja ky'abavubuka  ekyamukakanyeko...

Kiyemba ng'akuba akalulu.

Nja kukkiriza ebinaava mu k...

Sipiika w'olukiiko lwa munispaali y'e Makindye, Muzafaru Kiyemba nga naye ayagala ntebe y'obwa mmeeya agambye nti...

Mmengo etabuse ne St Lawren...

OBUTAKKANYA bubaluseewo wakati wa Mmengo ne St.Lawrence Yunivasite ng'entabwe eva ku mwala oguva ku ttendekero...

Abasawo nga beekebejja Isaac Okware.

Akabenje kagoyezza abantu e...

ABANTU abawerako bagudde ku kabenje leero ne batwalibwa mu malwaliro nga bali mu mbeera mbi. Abamu baatwaliddwa...

Ab'e Kabowa basabye ekitawu...

ABATUUZE b'e Kabowa basabye Mmengo eyanguye okugonjoola ensonga y'ekitawuluzi kyaabwe baddemu okukikoleramu emirimu...