TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ab'e Lwengo bawagidde eyeeyita omutume, ajjanjaba abalina ebizibu

Ab'e Lwengo bawagidde eyeeyita omutume, ajjanjaba abalina ebizibu

Added 16th April 2013

ABAKULEMBEZE ba Disitulikiti y’e Lwengo bawagidde Kazibwe Balinabe eyeeyita omutume ajjanjaba abalina ebizibu ebyenjawulo ng’ayita mu linnya lya Biikira Maria ne bagamba nti abamulwanyisa bakyamu.



Bya ALI MAMBULE

ABAKULEMBEZE ba Disitulikiti y’e Lwengo bawagidde Kazibwe Balinabe eyeeyita omutume ajjanjaba abalina ebizibu ebyenjawulo ng’ayita mu linnya lya Biikira Maria ne bagamba nti abamulwanyisa bakyamu. 

Kansala Annet Wamala Nalwadda bwe yabadde akiikiridde ssentebe wa LC5 mu disitulikiti eno, George Mutabaazi, yagumizza Balinabe ng’abakulembeze b’e Lwengo bwe batagenda kumulekerera kubanga n’akaseera abuzaayo katono ddala okuwangula sitaani amulwanyisa.

“Buli mukulembeze w’e Lwengo ku disitulikiti Balinabe akumanyi era naffe tukikakasa nga bw’ojjanjaba n’okutaasa abantu baffe mu bizibu ebyenjawulo ng’oyita mu ssaala za nyaffe Biikira Maria ne Eklezia zeetulagira okusoma kale beera mugumu ddala nti tewali agenda kukuggyawo,” bwe yagambye.

Balinabe ow’e Kyassonko mu muluka gw’e Busubi mu ggombolola y’e Kisekka e Lwengo yabadde ajaguza okuweza emyaka 15 ng’ajjanjaba abantu.

Omusumba w’Ekleziya Katolika e Masaka, John Baptist Kaggwa, yayisa dda ekiragiro ekikugira omukristu yenna okugenda ewa Balinabe okufuna

Amasakalamentu n’emikisa era bonna abagoberera omutume ono n’abagoba mu Klezia. okutuusa nga bamaze okwejjusa.

Ab’e Lwengo bawagidde eyeeyita omutume ajjanjaba abalina ebizibu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abasumba nga banyokeza akabaani okwetoloola mulambo gwa Ssaabasumba

Fr. Ssajjabbi annyonnyodde ...

OMUSUMBA Severus Jjumba bwe yabadde tannatandika Mmisa ya kusabira mwoyo gwa Ssaabasumba Dr. Cyprian Kizito Lwanga...

Kalidinaali Wamala

Kalidinaali Emmanuel Wamala...

KALIDINAALI Emmanuel Wamala akungubagidde Ssaabasumba Dr.Cyprian Kizito Lwanga eyamuddira mu bigere  n'alaga ennyiike...

Omugenzi Ssaabasumba Lwanga

Omugenzi Ssaabasumba Lwanga...

ENTEEKATEEKA z'okuziika Ssaabasumba Dr .Cyprian Kizito Lwanga ziwedde, olukiiko oluzikolako bwe lutegeezezza ng'...

Obutebe nga butegekeddwa ku Lutikko e Lubaga awagenda okuziikibwa Ssaabasumba Lwanga (mu katono) enkya.

Enteekateeka z'okuziika Ssa...

ENTEEKATEEKA z'okuwerekera Dr. Cyprian Kizito Lwanga abadde Ssaabasumba w'essaza ekkulu erya Kampala zigenda mu...

Todwong ng'ayogera eri ababaka abalonde olwaleero.

Ababaka abayonsa bagaaniddw...

ABABAKA abayonsa bagaaniddwa okwetaba mu lusirika lw'akabondo ka NRM aka palamenti enkya  e Kyankwanzi, wabula...