TOP

Okulwanyisa ettemu mu Rakai kukyakalubye

Added 30th April 2013

ABANTU e Rakai balaze obutali bumativu ku ngeri poliisi gy’ekuttemu emisango gy’obutemu 17 egy’abantu abattiddwa mu myezi esatu gyokka, wabula nga n’abaabadde bakwatiddwa baayimbuddwa oluvannyuma lwa poliisi okubulwa obujulizi obubaluma.



Bya JOHNBOSCO MULYOWA

ABANTU e Rakai balaze obutali bumativu ku ngeri poliisi gy’ekuttemu emisango gy’obutemu 17 egy’abantu abattiddwa mu myezi esatu gyokka, wabula nga n’abaabadde bakwatiddwa baayimbuddwa oluvannyuma lwa poliisi okubulwa obujulizi obubaluma.

Ettemu lino lyatandika okuteeka abatuuze ku bunkenke  nga January 13, 2013  ku bantu omwenda abaatemulwa mu famire emu ku kyalo Kyebe kyokka ng’okuva olwo buli luvannyuma lwa wiiki emu wabadde wabaawo ettemu mu bitundu bya disitulikiti eby’enjawulo.
 
Ekyewuunyisa ebitongole okuli amagye ne poliisi bizze biyiibwa mu Rakai okuffeffeta n’okumalawo abatemu kyokka na kati abantu bongera kuttibwa.
 
Abakulu mu poliisi okuli agikulira mu ggwanga, Lt. Gen. Kale Kayihura, abamyuka be; Okoth Ochola,  ne Grace Turyagumanawe n’abalala bonna bazze e Rakai okutema empenda okukomya ettemu kyokka ekyewuunyisa abatemu tebaatya na Kayihura bwe baatemula Maxensia Nantale nga naye mwali mu disitulikiti.
Kayihura yayungula abawanvu n’abampi abasoba mu 100 bayigge abatemu n’awaayo embwa ya poliisi, ne kabangali ennawunyi, kiyambeko okutangira obutemu obulala n’okufuuza abatemu bakwatibwe, kyokka embeera tennatereera kuba abasinga ku baakwatibwa, bayimbuddwa. 
 
Abattiddwa baweze 17 mu myezi 3
Abaakattibwa mu bbanga ery’emyezi esatu egiyise kuliko Paasita Steven Mugambe, Nowerina Nnaalinya, Maria Namatovu, Berna Nakivumbi, Jane Nakiwala, Andrew Ampiirwe, Christine Nassimbwa, Dan Ssemwanga ne Maxensia Nakirijja abattibbwa olunaku lumu mu nnyumba ya Mugambe ku kyalo  Kyebe mu ggombolola y’e Kyebe e Rakai.
 
Abalala  ye  Yulita Nabasajje ow’e Kirumba, Everisto Ngalukye ow’e Byerima West mu ggombolola y’e Kirumba, Maxensia Nantale ow’e Kasoga mu Kakuuto ng’ono yattibwa mu kiseera  Ssaabaduumizi wa poliisi we yabeerera e Rakai, Jane Nakalanzi eyali ow’e Kigenya mu ggombolola y’e Kasaali nga bano bonna baasangibwa basaliddwaako emitwe!
 
Ate Ssande Kagolo Katende n’omukyala Cissy Nakalawa battibwa nga March 30,2013 mu nnyumba yaabwe nga nabo baasalibwako mitwe wamu Namukadde Edisa Tebasuulwa eyali omutuuze ku kyalo Kissamula nga naye yasalwako omutwe bwe yali ava okufumbira muzzukulu we caayi ekiro n’omujaasi eyawummula WO11 Faustino Ddamulira (60) eyattiddwa wiiki ewedde ku Lwokuna.
 
Okunoonya abatemu kukalubye
1 Owooluganda lw’abantu omwenda abaatemulwa yakwatibwa kyokka oluvannyuma yateebwa olw’okubulwa obujulizi obumuluma era ali ku kyalo alya butaala.
 
2 Ku ttemu ly’e Kasoga- Kakuuto, poliisi yakwata abantu babiri ng’eyambibwako embwa okwali Tannansi Teruma 30 ne Kayirizi Musisi bonna abakyali ku alimanda ku ttemu lino.
 
3 Ku ttemu ly’e Byerima ne Kirumba abateeberezebwa baakwatibwa nga bakyali mu kkomera.
 
4 Ku ttemu ly’e Kagamba, Katende Kagolo n’omukyala Cissy Nakalawa, poliisi yakwata muliraanwa John Baptist Balyamuziba n’ab’omu maka ge bagiyambeko okunoonyereza olw’embwa za poliisi okusibira mu maka ge kyokka nga waliwo omuntu amannyiddwaako erya Fred gwe balumiriza .
 
5.ku ttemu ly’e Kisammula e Kyotera poliisi yakwata abazzukulu okuli Gerald Kyabaggu ne Fred Matovu era bano poliisi ebalina bakyabakunya nga kirowoozebwa nti baamutta lwa kwagala kutunda ttaka eriri okumpi n’ekibuga Kyotera!
 
6.Ku ttemu erikyasembeeyo ku Mzee Faustino Ddamulira ow’e Kibanda Kabira, poliisi yakutte muzzukulu we Deo Nsanda eyakkiriza ogw’okutta asobole okugabana ku kibanja mu maanguera ono ali mu kkomera alindiridde kutwalibwa mu kkooti kuvunaanibwa.

 

Okulwanyisa ettemu mu Rakai kukyakalubye

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...