TOP

Oluguudo lw''e Masaka lufuuse kattiro

Added 31st December 2013

OBUBENJE ku luguudo lw’e Masaka butuze abantu mu biseera by’ennaku enkulu ne buleka abalala nga bali mu malwaliro nga bamenyese amagulu n’emikono ate nga ku basatu abaafudde ba nnyumba emu





 Bya JOHNBOSCO MULYOWA ,PADDY BUKENYA NE HANIFAH NAMUWONGE

OBUBENJE ku luguudo lw’e Masaka butuze abantu mu biseera by’ennaku enkulu ne buleka abalala nga bali mu malwaliro nga bamenyese amagulu n’emikono ate nga ku basatu abaafudde ba nnyumba emu.

Akabenje kano kaatuze basatu abaabadde batambulira ku ttipa UAR 347 V emabega ng’etisse obummonde bwebaabadde bava okusuubula e Katerero nga babutwala Kyotera wabula mmotoka yalemeredde ddereeva n’ekuba ekifunvu ne yeevulungula okutuuka mu luwonko.

Basatu ab’enju emu abaafudde kuliko:

Leokadiya Nakasiita 49, abadde musuubuzi wa bummonde e Kyotera ku lw’e Beteremu, Fred Kalema 26 mutabani wa Nakasiita, Kenneth Serwadda 3 mutabani wa Kalema ne muliraanwa waabwe Fred Kiyimba gwe babadde baakazaako erya Kamamba.

Abaasimattuse n’ebisago ne batwalibwa mu ddwaaliro e Rakai kuliko:

Tonny Kasagga ne Kintu Kisekulo batabani ba Nakasiita eyafudde ne Muhamad Buuza abaasangiddwa mu ddwaaliro e Rakai ne bannyonnyola engeri gye baafunyemu akabenje akaabamenye amagulu.

Akabenje kaaguddewo ku Ssande olweggulo era Stella Babisusa akulira poliisi y’ebidduka e Rakai yategeezezza nti mmotoka eyakoze akabenje baagitutte ku Poliisi e Kyotera nga bwe banoonyereza okuzuula ekyavuddeko akabenje.

Tippa eyakoze akabenje.

Mu kabenje akalala Kosita UAP 706R eyabadde ejjudde abasaabaze yatomereganye ne Fuso UAP 247P ng’etisse amatooke e Gulama wakati wa Kammengo ne Kampiringisa ku luguudo lw’e Masaka era ddereeva wa kosita Ssaalongo James Kivumbi ow’e Kabaseke Kyotera yafi iriddewo.

Abaalumiziddwa ennyo kuliko:

Alfred Altzoro omusomesa mu Kakoma SS e Lira eyakutuse amagulu, Joseph Kasiita, Hassan Kato, Rehema Namugumya, Joseph Kato ne Joyce Nalukwata bonna b’e Kyotera.

Atwala poliisi y’ebidduka e Kammengo, Julius Muhoozi yategeezezza nti abaalumiziddwa baabadde basoba mu 10 nga kiteeberezebwa nti ddereeva Kivumbi yabadde akooye ne yeebakira ku siteeringi.

Akabenje akalala kaagudde e Matanga nga Muhamad Kabugo yatomeddwa ttipa UAT 634M n’esaanyawo pikipiki kwe yabadde atambulira ddereeva wa ttipa, Joseph Kakooza yadduse.

Kabugo ow’e Nsangi mu Wakiso apooca mu ddwaaliro e Masaka gy’ajjanjabirwa nnyina Jamidah Nakintu era akabenje kaamuwanguddemu amannyo. Abaabaddewo baategeezezza nti ddereeva wa ttipa yayingidde oluguudo omulundi gumu nga tamaze kwetegereza oba waliyo mmotoka ejja.

 Kasagga eyamenyese okugulu mu kabenje.

Akabenje akalala kaaguddewo oluvannyuma lwa mmotoka eyabadde eva e Lwaggulwe mu Rakai ng’eyolekera mu kibuga Kampala okwabika omupiira ne yeevulungula abaabaddemu ne baggyibwamu nga bali mu mbeera mbi. Waliwo ne bannaabwe basatu abaakutuse amagulu.

Akabenje kano kaabaddewo ssaawa 12 :00 ez’oku makya ku Lwomukaaga mu buduuka e Kirimya okumpi n’ekibuga Masaka.

Abantu abaasinze okukosebwa mu kabenje kano kwabaddeko abaana abali mu myaka 4 nga ku bano kwe kuli Agnes Namuddu ono yakutuse okugulu ne munne John Paul Lubega eyakutuse engalo ssatu.

Abalala kuliko Norine Nantongo omutuuze w’e Kawaala yamutemye omutwe, Faith Namutosi w’e Mbale, Badiru Kalema w’e Nsangi, Sarah Nasubika, Joseph Ssango, Moris Mukasa, Madina Nassuuna, Ritah Nannyondo n’abalala abaafunye obusago obutonotono.

 

Oluguudo lw''e Masaka lufuuse kattiro

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzannyi wa Villa (ku kkono) n'owa Busoga United nga bagoba omupiira mu gwa liigi ogusembyeyo. Baagwa maliri, 1-1.

VILLA ETUNUZZA OMUDUMU MU UPDF

Leero (Lwamukaaga) mu Liigi (10:00); SC Villa - UPDF, Bombo Onduparaka - Vipers, Arua KCCA - Kitara, Lugogo Bright...

Cheptegei ng'ajaganya.

Likodi za Cheptegei zimweyi...

ENJOGERA egamba nti ‘Katonda nga yaakuwadde, n'ennume ezaala' etuukira bulungi ku muddusi Joshua Cheptegei. Ye...

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Hippos eyiseemu kavvu

ENKAMBI ya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000...

Ttakisi mu paaka enkadde.

'Bbeeyi y'entambula esusse'

ABABAKA ba palamenti bennyamivu olw’ebisale by’entambula ebyeyongera okulinnya buli lukya ekinyigiriza abasaabaze....

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

Bajjukidde Ssaabasumba Kiwa...

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n’aziikibwa mu Eklezia...