TOP

Ab'e Kalungu basiimye Ssempijja okubasakira

Added 21st January 2014

OMUBAKA wa Kalungu East mu Palamenti, Vincent Bamulangaki Ssempijja assiddwa ku minzaani abalonzi be mw’ebyo by’atuukiriza n’okulaba by’atannatuukirizza nga bwe yabibasuubiriza ku kadaala.Bya Ssenabulya Baagalayina

OMUBAKA wa Kalungu East mu Palamenti, Vincent Bamulangaki Ssempijja assiddwa ku minzaani abalonzi be mw’ebyo by’atuukiriza n’okulaba by’atannatuukirizza nga bwe yabibasuubiriza ku kadaala.

Kino ky’ekisanja kye ekisoose mu Palamenti mwe yeeyubulira ng’ava ku bwa Ssentebe bwa Greater Masaka nga tennakutulwamu Lwengo, Bukomansimbi ne Kalungu.

Ssempijja ( ku ddyo) n’Abamerika mikwano gye abaazimba eddwaaliro lya Uganda Cares e Lukaya.

Abalonzi bakkiriza nti Ssempijja okumanyika kwa Kalungu East akwongedde n’awulikika ng’abagasse n’abeerabiza okutaagukataaguka kwe beetagulamu mu kulonda ekimuweesa obubonero olw’okudibya olulimi lwa ‘gundi teyampagira tumuboole’.

BY’AKOZE
Wadde mu kusooka abamu ku bawagizi be baamunyiigira nti teyandisembezza baamulwanyisa naye bagenze bamukkiririzaamu nti omukulembeze omutuufu agatta b’akulembera.

Abamu bamuwagira nti wadde mu Palamenti yagendayo ku lulwe so ssi ku kaadi ya NRM nti naye abanywerezza mu kifaananyi ky’omukwano gwabwe n’eri Pulezidenti Museveni ne gavumenti.

Kino osanga Pulezidenti kwe yasinziira n’amukyaza mu konsityuwensi n’amulambuza abalimi mwe yabasuubiriza endokwa z’emmwaanyi akakadde kalamba.

Yakyaza mukyala we Janat Museveni n’aggulawo eddwaaliro lya siriimu erya Uganda Care e Lukaya lino nga Abubaker Mayanja alyogerako ng’obuwanguzi nnamba emu obwa Ssempijja mu bisuubizo bye.

Mayanja agattako nti eby’emizannyo abikoze wadde ng’abandi bagamba nti bikyabulamu era akyabulamu n’okulambika abakulembeze ba Disitulikiti n’abamagombolola okukomya entalo.

BY’ATANNATUUKIRIZA
Abalala bagamba nti oluusi tatuukiriza mu budde obweyamo bw’aba asuubizza ng’adduukirira pulojekiti nti n’okuteesa mu Palamenti basinga kumulabira mu bukiiko.

Bano bamusabye bamulabeko mu kuteesa okw’awamu ng’akalambidde ku nsonga naddala ezo ezigasa abantu bonna ne bamusiima obutekandagga kuba ssi kye baamutuma.

Kavuma agamba nti amazzi g’e Bukulula ne Lwabenge tannagatuusa so nti n’emmwaanyi za Pulezidenti baagala ababuulire we zaasikattira?

Nti ne bakakuyege be abasasule kuba akalulu kaabamenya era ayongere okulung’amya abakulembeze ba Lukaya Town Council bazze ku bbali ennyombo.

David Ssegawa sipiika w’eggombolola y’e Lwabenge agattako nti Ssempijja emmwaanyi azigabye n’okudding’ana mu bantu akukoze ng’ekibulamu kwe kutuuza bakampeyina be nabo beeyise kye kimu nga beggyamu okusosola kuba bakukuta nnyo n’ebibaweereddwa okubiwa abantu.

Agamba nti amasannyalaze g’e Bugomola n’amazzi bikyagaanyi okutuukirira so ng’amasannyalaze Pulezidenti aludde ng’agasuubiza okuggyibwa e Miwuula gatuuke e Bugomola ne layini endala okutuuka e Birongo-Kiragga.

Ssempijja agamba nti olubimbi olusinga obunene kw’ebyo bye yasuubiza ng’okugaba endokwa z’emmwanyi akakadde kamu n’emitwalo 20 abituukirizza.

“Njagala nkitang’aze bulungi nti ku mmwanyi zino tekuliiko muti n’ogumu kw’ezo akakadde k’endokwa ezaasuubizibwa Pulezidenti,ezo zikyaliyo mu bujjuvu bwazo era ziri mu mikono gya UCDA abalina okuzigabanya”,Ssempijja bw’anyannyola.

N’agattako nti zino zaayimirizibwa olw’omusana kuba zo zirina okugabibwa mu ntegeka ennung’amu nga ziweebwa abeetegese abanalondoolwa n’olwekyo ze mbadde ngaba zonna zibadde zange.

Kuno agasseko okugaba ente,embizzi n’embuzi byonna by’akoze olw’okulwanyisa obwavu gattako yiika z’ettaka bbiri okuzimbibwa akatale k’e Lukaya ku Road Toll,amasefulira n’amasowaani olw’abo abatalina busobozi bupangisa bafumbi ku mikolo.

Ku by’enjigiriza,agamba olw’abaana abangi mu misoso gy’ebyalo abatasobola kufuna bigezo bya kwegezaamu ng’oluusi ly’ekkubo eribaleetera okugwa ebibuuzo bya PLE yabasobozesezza okubifuna baggwemu ekiwuggwe.

“Ekitundu kino kikoseddwa nnyo omusana,nnasaawo mmotoka ebagabira ku mazzi mu bubuga,emikolo n’amasomero ng’omusana guno gwagootanyizza nnyo ekiruubirira ky’emmwanyi kuba ezasooka okubagabirwa kati zaandibadde zibala” bw’agamba.

lutalo lw’okulwanyisa siriimu ndwongeddemu amaanyi,bwe nnyonnyogedde Abamerica ne bazimba eddwaliiro lya siriimu eddala e Lukaya erya Uganda Care lya buwumbi butaano omubudabuddirwa ab’akawuka kano n’okwekebeza omusaayi ku bwerere kino nga bwe nnakyeyama mu kampeyini.

Abamerica bano era bakkirizza n’okujanjabirawo endwadde ez’ebika ebirala batandika n’abemyaka 15 okudda ku w’olunnaku olumu ng’obujanjabi babufunira ku bwerere nga bajja kutambula batyo mpaka lwe banazingiramu abantu bonna.

Bano era batuyambako mu kuvujjirira abajjanjabi baffe ab’ebyalo oba VHT abawera 300,babawa eddagala n’ensako n’obugaali obubatambuza mu Bukulula,Lwabenge n’e Lukaya.

Eby’emizannyo mbitaddeko amaanyi nga ne ttiimu ya Masaka LC ssaagisuulawo nkyagivujjirira obuyambi nga nnyambibwako mikwano gyange ekikyaginywereza mu Super Divizoni kwe ntadde okusaawo ebikopo ng’e Lukaya n’e Bukulula.

Mbasakidde ensigo za kasooli n’ebijanjaalo ebibagabiddwa mu nkola ya NAADS kwogatta obuwunga n’ebijanjaalo ebyampeereddwa ofiisi ya Katikkiro wa Uganda ng’amagoba gano gavudde mu kubabeerera eddoboozi n’olujegere ne Gavumenti.

Gavumenti zombi eya Kabaka n’eyawakati aba Kalungu East tebatoma naddala ebikwatagana ku bulimi n’okusinga emmwaanyi,mbadde ku mwanjo.

Okugatta abalonzi abaali beetaguddetaagudde olw’ebyobufuzi,guno omulimu tegubadde mwangu naye nakulembeza enkola ya ‘bw’omegga toluma’.

Mu mutima guno mwe mpagiridde pulojekiti z’okuzimba amasinzizo, amasomero n’emirimu gya bassekinomu, okusima enzizi n’okuddaabiriza nnayikonto ebiganyula abantu bonna .

Okusoomozebwa;Ebyetaago by’abantu biri wagulu nnyo ng’obusobozi bw’omubaka bubambagako bibambage naye mu bbanga erisigaddeyo obwanga mbutunuulizza abavubuka n’abakyala okulaba nga bassa essira ku kukola ennyo okutali kwa Bbettingi ne ppuulu.

Bano singa buli omu abeera ne yiika y’emmwanyi emu gy’emiti 450 asobolera ddala bulungi okwemalako ebibamba kw’ayongereza okutuuka ku yiika ttaano olwo obwavu n’abeera abwegobeddeko ddala.

 

Ab’e Kalungu basiimye Ssempijja okubasakira

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Paapa Francis nga yaakatuuka  mu Iraq ku Lwokutaano.

Engeri Paapa gye yeesitudde...

PAAPA Francis ‘Baba al Vatican' (nga bwe bamuyita mu Iraq) ku bugenyi obwebyafaayo mu Iraq yasisinkanye n'omukulembeze...

Catherine Namaato baamusala Catherine okutu ng’ava okukola..

Abakuba obutayimbwa basitud...

BANNAKYOTERA beeraliikirivu olw'akabinja k'abanyazi akateega abantu nga bava okukola ne babakuba obutayimbwa ku...

Ssebwana Kiberu (ku ddyo) ng’akulembeddemu Bannabusiro okukola bulungi bwansi e Kajjansi.

Ssebwana akuutidde abavubuk...

OMWAMI wa Ssaabasajja atwala Essaza ly'e Busiro, Ssebwana Charles Kiberu Kisiriiza, akuutidde Abavubuka abaalondeddwa...

Abamu ku bavubuka abagambibwa okubbira ku bodaboda abakwatiddwa.

▶️ Akabinja k'aba bodabo...

AKABINJA k'ababodaboda ababbi katadde abasuubuzi mu Kampala ku bunkenke. Babbye ssente obuwumbi bubiri mu wiiki...

Omwami w’eggombolola y’e Ngogwe, Livingstone Kisekka (ali mu kyambalo okuli engabo) ng’alaga Omulangira Wasajja (mu ssuuti wakati)amakula ge baaleetedde Kabaka.

Wasajja ajjukiza Gavumenti ...

OMULANGIRA David Kintu Wasajja agambye nti Obwakabaka bwa Buganda bwennyamivu olwa gavumenti okuba nti ekyagaanye...