
Bya JOHNBOSCO MULYOWA
POLIISI etandise okubuuliirzza ku bigambibwa nti abatta abantu e Rakai tebaali basezi wabula ettemu eririmu okutta abantu ebitundu by’emibiri ne babitunda mu mawanga ageetoolodde Uganda okuli ne Tanzania.
Kino kiddiridde abagambibwa okuba abasezi okutta Peace Kyomukama n’omwanawe Kamuniini ow’emyezi omwenda, be baataayizza mu lusuku gye buvuddeko ne babasalaasala ne bagabana 'ennyama' yaabwe!.
Poliisi egamba nti kyazuuliddwa mu kunoonyereza ku bateeberezebwa okutta Kyomukama ne bamulya nti ekifo awagambibwa okuba ettemu entamu zaawo Poliisi yazeekenneenyezza nga zibadde tezifumba 'nnyama' okumala ennaku eziwerako.
Akulira okubuuliriza ku misango ku poliisi e Rakai, Thaban Chiriga yakakasizza nti bakyagenda mu maaso n'okunoonyereza ku nsonga y’okutunda ebitundu by’emibiri gy’abantu kyokka baasoose kwagala kuttaanya ku nsonga y’obutemu.
Kiteeberezebwa nti ebitundu by’omubiri ebimu baabitunda e Tanzania era ne Ronald Mwanje omu ku bantu poliisi beeyigga gy’ateeberezebwa okuddukira.
Gye buvuddeko Katikkiro wa Buganda yavuddeyo n’asaba abakulira eby’okwerinda bakole okunoonyereza ku nsonga eno kubanga abantu bagenda kwerimbika mu busezi batte bannaabwe nga tewali abakuba ku mukono.
Bino we bijjidde nga Robina Twinomugisha Kapasika, nnyina wa Gabudyeri Bandihihi, bba w’omukazi Kyomukama agambibwa okuttibwa naye afudde kikutuko!. Yabadde ajaganya bwe yawulidde nti abagambibwa okutta mukamwana we basindikiddwa ku limanda.
Omubaka wa Kkooki mu Palamenti, Amos Mandera yasabye Poliisi ennyonnyole ku nfa ya Erias Musujja agambibwa eyeetugira mu kaduukulu ka poliisi e Masaka kubanga.
Amos agamba nti wandibaawo ekkobaane okubuzaawo obujulizi kubanga n’omulala abadde anoonyezebwa ku ttemu lino yeesudde mu nnyanja!.
Eby’abasezi e Rakai Poliisi ebiyingizzaamu ettemu