TOP
  • Home
  • Masaka
  • Kkooti y'e Masaka egobye omusango gwa Bukoto East

Kkooti y'e Masaka egobye omusango gwa Bukoto East

Added 3rd March 2016

Kiboneka yasabye kkooti bw’egoba omusango, omuwaabi ereme kumukaka kuliyirira kyokka omulamuzi n’amulagira asasulire be yawaabira.

 Florence Namayanja ng’ayogera n’abamawulire.

Florence Namayanja ng’ayogera n’abamawulire.

Bya HANIFA NAMUWONGE

KKOOTI e Masaka egobye omusango munnaNRM ,Dr Abdallah Nkoyooyo gwabadde yawaaba ng’ayagala okubala obululu bw’e ssaza lya Bukoto East kuddibwemu, ng’eno owa DP Florence Namayanja yawangula n’obululu 16,168 ku 15,775.

Omulamuzi atwala kkooti ento e Masaka, Samuel Munobe yagobye omusango guno nga kino kiddiridde bapuliida ba Dr Nkoyooyo nga bakulembeddwa Richard Kiboneka okusaba kkooti egugobe nti bbo babadde babiggyeemu enta oluvannyuma lw’okukizuula nti ennaku ennya ezikkirizibwa mu mateeka okuwaaba zibadde zaayitako ate nga balaba ne kkooti ekola mu kasoobo.

Kiboneka yasabye kkooti bw’egoba omusango, omuwaabi ereme kumukaka kuliyirira kyokka omulamuzi n’amulagira asasulire be yawaabira.

Kooti yasoose kuyimirizibwa okumala esaawa nnamba oluvannyuma lwa puliida w’omuwaabi, Moses Kabega obutalabikako kyokka nga waliwo ekiwandiiko kyabadde yawadde oludda oluwawaabirwa nti yabadde takyetaaga kugenda mu maaso na musango guno.

Oluvannyuma lw’okugoba omusango, Nkoyooyo yategeezezza nti tamatidde nansalawo eno kuba ye yawaaba mu budde era ng’abadde asuubira kkooti okusalawo mu mazima wabula n’agamba nti okujulira waakusooka kwebuuza ku bannamateeka be.

MunnaDP Florence Namayanja yategeezezza nti munne tabadde na bujulizi era ng’ekigendererwa kye kibadde kya kumwonoonera budde kyokka n'asiima ensalawo ya kkooti nti waakuliyirirwa ebyo byonna by’ataddemu mu musango guno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lumu omusomesa w'e Gayaza ng'ayimba.

Omusomesa w'e Gayaza Junior...

  Omusomesa wa Gayaza Junior School   Richard Lumu ayiiyiiza oluyimba olukungubagira Ssaabasumba Cyprian Kizito...

Fr.Sserugga ng'abatiza omwana.

'Mwegendereze amannya ge mu...

Abazadde bakubiriziddwa bulijjo okubeera  abegendereza ennyo ku mannya ge batuuma abaana baabwe beewale okumala...

Omulabirizi Tamale n'abamu ku bannaddiini mu kusaba kwa Paasika.

Okufa kwa Ssaabasumba kutuk...

OMULABIRIZI wa West Buganda, Rt. Rev Henry Katumba Tamale ye yakulembeddemu okusinza kwa Paasika mu Lutikko ya...

Ssaabasumba Jonah Lwanga ng'asaba ku Paasika.

Eklesia y'Abasodokisi mu Ug...

EKLESIA y'Abasodokisi mu Uganda esabidde Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ng'Obuganda bw'etegekera okujaguza amazaalibwa...

Rt. Rev Wilberforce Kityo Luwalira ne mukyala we,  Maama Nabagereka, Ven. Rev. Can. Jonathan Kisawuzi Namirembe eggulo.

Bp. Luwalira yeekokkodde eb...

OMULABIRIZI w'e Namirembe Rt. Rev. Wilberforce Kityo Luwalira yeekokkodde ebikolwa ebyekko ebigenda mu maaso mu...