TOP
  • Home
  • Masaka
  • Bassentebe b'ebyalo balabuddwa okukomya okulya enguzi

Bassentebe b'ebyalo balabuddwa okukomya okulya enguzi

Added 14th September 2020

Bassentebe b’ekibiina kya NRM ab’ebyalo 438 ebikola disitulikiti y'e Lwengo bafunye akaseko ku matama oluvannyuma lwa Pulezienti Yoweri Kaguta Museveni okubakuba enkata ey’obugaali bubayambeko okumunoonyeza akalulu awamu n’emirimu gy’ekitundu kyabwe.

Capt. Birimumaaso ng'akwasa bassentebe b'ebyalo obugaali. Ebifaananyi bya Florence Tumupende

Capt. Birimumaaso ng'akwasa bassentebe b'ebyalo obugaali. Ebifaananyi bya Florence Tumupende

Obugaali buno yabutisse ssentebe w'ekibiina kya NRM mu disitulikiti eno, Capt.Mulindwa Birimaaso.

Capt Birimaaso yennyamidde olw'enguzi esusse mu bassentebe bano ekivuddeko okubikkirira ebikyamu bw'atyo n'abakuutira okuba abeerufu balyoke batambuza obulungi emirimu gy'ekibiina.

"Ssentebe omulamba oyinza otya okulonkooma omusawo abba eddagala oba omusomesa eyeebulankanya ku mirimu gye nga yakusonseka dda eccupa ya walagi,"Capt Birimaaso bwe yeebuuzizza mu kwogera kwe.

Mu ngeri y'emu yabasabye obugaali obubaweereddwa okubukozesa nga banoonyeza Pulezidenti Museveni akalulu awamu n'okutambuza emirimu gy'ekibiina kya NRM.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Balooya ba Ssewanyana nga balina bye bamwebuuzaako.

Omubaka Ssewanyana ne banne...

Omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana eyasindikibwa mu kkomera e Kitalya wiiki ewedde n'abawagizi be  kyaddaaki...

Nabbi Omukazi ayagala ABS ...

MARGIE Kayima (Nabbi Omukazi) ayagala aba ABS TV bamusasule obukadde 700 lwa kukozesa eddoboozi lye mu kalango...

Mugagga ng'alaga ezimu ku nte eziri ku ffaamu ye.

ETTAKA ERIRIMU AMAZZI G'ENS...

MAUREEN Mugagga agamba nti yafuna ettaka okuli ensulo z'amazzi agakulukuta agafuuse ensulo y'obugagga kubanga gamusobozesa...

Minisita w'ebyenguudo Gen. Katumba Wamala ng'atongoza ebyuma ebikola enguudo e Masaka.

'Alina pulaani ku nguudo gw...

OKWETEGEKERA akalulu ka 2021, Vision Group etwala ne Bukedde ekoze okunoonyereza n'ezuula ebizibu ebiruma abantu...

MOHAMMED Ssegirinya ayimbud...

MOHAMMED Ssegirinya bamuyimbidde mu kkomera e Nalufeenya gy'amaze ennaku mukaaga bwe yakwatibwa ng'awa amawlire...