TOP
  • Home
  • Masaka
  • Taata azirikidde mu kifo abazigu we baatemulidde mutabani we ne batwala pikipiki

Taata azirikidde mu kifo abazigu we baatemulidde mutabani we ne batwala pikipiki

Added 14th September 2020

TAATA Charles Sserugo azirise ng'atunudde ku mulambo gwa mutabaniwe Henry Sserugo eyasangiddwa ng'atemuddwa ababbi ne batwala pikipiki gy'abadde avugirako bboodabbooda.

Gulabiddwa Joseph Ssemwanga agwekanze mu nnimiro gye yakedde okulima ng'ababbi bamukubye ennyondo ku mimwa ne bamuyiwa amannyo.

Bazzizzaako okumutugisa olukoba lw'eggaali ne balumusibisa akandooya emikono n'amagulu olwo ne bamukasuka mu nnimiro. 

Taata ng'azirise

Ettemu lino libadde ku kyalo Kasuula A e Kyamuliibwa mu Kalungu.

Taata Sserugo nga tannazirika ategeezezza nti eno pikipiki ya kusatu gye babbye ku Kasibante mwe batwalidde n'obulamu bwe.

Abatuuze nga bawuniikiridde

Abakulembeze Godfrey Ssagala, Galabuzi Ssekimpi,HarunaMwesigwa ne Joseph Mugagga bekokkodde ettemu erisitudde enkundi mu kitundu ng'ate likolebwa n'abaana enzaalwa z'ekitundi. 

Beegatiddwaako abatuuze okekwokkola nti nayo Poliisi tebayambye kukangavvula bamenyi b'amateeka ng'ebayimbula tebawozeseddwa mu kkooti.

Taata nga bimusobedde

Poliisi esindikiddwa DPC Charles Okello eggyewo omulambo n'egutwala mu ddwaliiro e Masaka nga bw'eyigga abatemu.

Abatuuze nga bawuniikiridde

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu