TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Aba Twaweza bafulumizza alipoota ku nkozesa y'emikutu gy'empuliziganya

Aba Twaweza bafulumizza alipoota ku nkozesa y'emikutu gy'empuliziganya

Added 28th September 2020

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire gebaagala awatali kukugirwa.

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire gebaagala awatali kukugirwa.

Etteeka liwa munnansi omukisa okubuuza embalirira n'okugyekenneenya ku mirimu gya gavumenti egiteekeddwamu sente z'eggwanga.

Ekigendererwa ekikulu kyali kya kuwa bannansi omukisa okwenyigira mu kusalawo ku nsonga ez'enkizo ku mitendera egye'enjawulo.

Newankubadde etteeka ligamba lityo ebikolebwa ne bye bateeka mu nkola bikontana n'ebiri mu biwandiiko.

Okunoonyereza okwenjawulo okuzze kukolebwa aba Twaweza omwaka guno kulaga nti abakozi ba gavumenti okuwa omuntu amawulire geyetaaga kulimu emitendera mingi olumu ogiremesa okukituukiriza.

Okunoonyereza kwe baakola ne bafulumya lipooti ku lunaku lw'eddembe ly'amawulire mu nsi yonna kulaga nti ku buli bantu bana osangako basatu nga bakozesa radio ng'omukutu kwe balina okufuna amawulire. 

Bano bakola ebitundu 74 ku 100 ate abantu 10 osangako omu nga TV gwe mukutu kw'aggya amawulire ekikola ebitundu 13 ku 100.

Okunoonyereza kwekumu kulaga nti bannansi ebitundu 94 ku 100 bawagira okuteeka akazito ku babaka ba palamenti kubanga banafu ku nsonga eno era tebafaayo kulwanirira bantu.

Wabula Godffrey Macho omubaka wa munisipaali y'e Busia agamba nti  nga palamenti tuzze tuvumirira okulemesa abantu okufuna amawulire gebaagala wabula tukizudde nti abamu babeera tebamanyi so nga lino ddembe lyabwe okuweebwa bye baagala okumanya okuva mu gavumenti.

Omuntu agenda ku poliisi n'asaba sitetimentiye ne bagimumma so ng'etteeka likirambika bulungi nti asaanidde okumimanya. Ebimu bikolebwa biringa ebiraga nti gavumenti ekola amateeka kyokka n'esigala ng'egeekoledde nga yo ne gatagasa batuuze.

Newankubadde Omubaka Macho agamba nti bakoze kaweefube oyo, lipooti eraga nti bannansi ebitundu 94 ku 100 si bamativu n'emirimu gy'ababaka baboogerako ng'abanafu.

LIPOOTI KU BAKOZI BA GAVUMENTI:

 November 2019, aba Twaweza baakola okunoonyerza okulala okuzuula ekituufu ku mateeka agalai mu bitabo n'ebikolebwa ne bazuula nti:

Gavumenti okuteekawo enkola nga basaba emikutu gy'amawulire okuwaayo obudde okwogera ku nteekateeka za gavumenti kiyambye nnyo okuwa bannansi omukisa okwogerezeganya n'abakungu ba gavumenti.

Kyokka kulaga nti abakozi ba gavumenti abaalondebwa mu kalulu n'abo abalondebwa pulezidenti bangi tebanyi tteeka lino erikkiriza abantu okumanya bye baagala okutegeera era baategeeza nti tebatendekebwangako ku biri mu tteeka.

Bangi tebamanyi nti kibakakatako okuwa abantu amawulire gebaagala wabula balowooza nti ddembe lyabwe okubabegereko bo kye baagala okubategeeza.

Ofiisi za gavumenti nnyongi tezirina mbalirira era teziweebwa sente kukola mirimu gyazo kyokka banansi bangi balowooza nti okwetaba mu nkiiko za gavumenti bateekwa okusasulwa.

Ronie David Mutebi (Buikwe South) yategeezezza Bukedde nti etteeka bwe lifuluma liteekebwa mu nkola wabula ebisinga obungi byonoonekera ku ludda lw'abantu abalina okufuna amawulire. Wano mu Uganda abantu tebaagala kusoma bintu ebibaweereddwa naye awali public Libray tebazikozesa.

Amawulire weegali mu ggwanga naye abantu tebafaayo kugasoma, emikutu gya yintanenti abantu bagendayo kunyumira birala ne batasoma bye basaanidde okumanya so nga kwebiri ku mikutu egy'enjawulo.

Public ofiisi nnyingi zikoze kyezisobola okukozesa emikutu gy'amawulire naye bwe bagiwa abantu tebagikozesa. Omulimu ogusinga gusigadde kuyambako kumanyisa bantu gye basobola okusanga amawulire gebetaaga.

LIPOOTI KU NGERI BANNANSI GYE BEETABA MU NKUNG'AANA:

Ekiseera kyonna demokulasiya annyonnyolwa nti ye gavumenti eyabantu ng'ekolebwa bantu nga kiraga nti omuntu wabulijjo ateekwa okwenyigira butereevu mu kusalawo ku nsonga ez'enkizo.

Okunoonyereza kwa twaweza okwakolebwa December 2018 kwanukula ebibuuzo ku ngeri abantu gye beenyigira mu kusalawo ng'eyanukula ebibuuzo eby'enjawulo:

Bannansi beenyigira batya mu nteekateeka za gavumenti? Mitwe ki gye basinga okukubaganyako ebirowoozo? Kiki ekiremesa bannansi okwetabamu n'ebirala.

Bye baazuula ebiri mu lipooti biraga nti: 

• Bannansi baali batoono nnyo abakkiriza nti beetabako mu lukung'aana lwa gavumenti lwonna omwako oguyise.

• Abalemeddwa okwetaba mu nkung'aana oba enkiiko bawa ensonga eziwerako ezibalemesa.

• Abantu 10 osangako 4 abasobodde okutuukirira abakulembeze ba gavumenti z'ebitundu okutusaayo ekizibu kyabwe.

• Buli bannansi 5 kuliko 3 abeetabye mu nkung'aana z'okusalawo omwaka oguwedde.

• Kyokka ku buli bannansi bana osangako basatu abagamba nti newankubadde bagenda mu nkiiko, si kyangu okutuusa ekirowoozo kyo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusumba Kaggwa ng'asala keeki n'abamu ku bataka b'ekika ky'Embogo.

Katikkiro Mayiga alabudde a...

EBYA poliisi okukuba omukka ogubalagala ku mukolo gw'abeekika kye Embogo biranze, Mmengo bw'etadde Gavumenti ku...

Abaserikale nga batwala omuvubuka gwe baakutte.

Ababazzi ku Bbiri bataayizz...

ABABAZZI b'oku Bbiri bataayizza abavubuka abagambibwa okuba mu kabinja akatigomya abantu ne babakuba.  Akabinja...

Minisita Kasolo ng'ayogera

Kampala mugigye mu by'obufu...

Minisita omubeezi ow'ebyensimbi n'ebibiina by'obwegassi Kyeyune Haruna Kasolo, yennyamidde olwabantu abafudde Kampala...

Paasita Yiga

Paasita Yiga mulwadde muyi

EMBEERA y'omusumba w'ekkanisa ya Revival Christian Church e Kawaala, Augustine Yiga yeeraliikirizza abagoberezi...

Namuli kati atunda nnyaaya e Kyengera.

Abaana be nasomesanga bansa...

Nga tukyatunuulira engeri ekitiibwa ky'abasomesa gye kityobooddwaamu, Teopista Namuli, akulira essomero lya Wonderworld...